Amawulire

Bebi ow’emyezi 4 bamutuze

Ali Mivule

June 14th, 2017

No comments

 

Poliisi mu disitulikiti ye Mbarara ekyanonyereza ku mwana ow’emyezi 4 eyatiddwa mungeri etanategerekeka.

Taata w’omwana ono ye  Keneth Muhumuza ne Sarah Turyamwijuka nga bonna batuuze ku kyalo  Kibaba cell mu gombolola ye Nyakayojo .

Turyamwijuka agamba omwana baamulese mu ddiiro nebagenda mu lusuku baagenze okudda nga omwana taliiwo.

Bwebaanonyezza okumala akabanga baagudde ku mulambo nga guli mu baketi ejjudde amazzi.

Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ye Mbarara John Bosco Mutabazi  agamba bwebekebezze omwana ono mu ddwaliro lye Mbarara, baakizudde nti yasoose kutugibwa omulambo negusuulibwa mu baketi.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *