Amawulire

Bannamagoye bakukulumye

Ali Mivule

June 13th, 2017

No comments

 

Ekibiina ekigatta bannamagoye mu ggwanga kyagala gavumenti ereme kubaleka mabega mu nteekateeka z’okuyamba abantu abenjawulo bwekituuka ku by’obulamu n’ebyenjigiriza.

Akulira ekibiina kino  Jude Ssebyanzi  agamba nti nga Uganda ekuza olunaku lwabannamagoye olwalero, bangi ku bannamagoye balekeddwa ttayo mu nteekateeka za gavumenti.

Agamba balina enteekateeka y’okuteekawo ekifo awakunganira bannamagoye okufuna eddoboozi eryawamu.

Ssebyazi agamba basosolebwa nga bangi ku baana baabwe bawanduse mu massomero olwakino olwo bangi nebasigalira emabega.

Ono era yekkokodde n’abasawo bekinansi ababasaddaaka nga basuubira nti baliko ebyobugagga