Amawulire

Omulangira David Ssimbwa aseeredde

Ali Mivule

November 6th, 2014

No comments

Mu mawulire ag’ennaku omulangira David Ssimbwa  aseeredde. Omulangira afiiridde mu ddwaliro e Nakasero gy’amaze ebbanga nga ali bubi. Omwogezi w’obwakabaka bwa Buganda Denis Walusimbi akakasizza okuseerera kw’omulangira era n’ategeeza nga olukiiko olw’enjawulo bwerugenda okuyitibwa okutegeka amaziika. Omulangira abadde atawanyizibwa obulwadde bwa pulesa n’ekirwadde ky’omutima . […]

Aba Somali akwatiddwa

Ali Mivule

November 6th, 2014

No comments

Poliisi ye Tororo eriko banansi b’eggwanga lya Somalia 3 bekutte nga basalinkiriza okuyingira eggwanga mu bukyamu.   Fatun Abdi Abdullah, Ali Abdi Mohammed, and Mohammed Abubakar Yusuf, beebakwatiddwa nga bayita ku mugga Malaba okwesogga Uganda.   Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi  Michael Odongo […]

Abayizi be Makerere bazzeemu okwekalaakasa

Ali Mivule

November 6th, 2014

No comments

Okwekalakaasa ku ttendekero e Makerere ssikwakuggwa kati. Abayizi b’essomero ly’ebyenfuna ab’omwaka 3 beekalakaasa nga babanja ebyava mu bigezo byabwe byebagamba nti biruddeyo. Abayizi bano bagamba nti kati gino myezi 2 nga tebaweebwanga alizaati zaabwe. Wabula akola ku nsonga z’abayizi okuva ku ssomero lino Umar Kakumba […]

Besigye ayogedde ku by’obuyambi we- mutiisatiisa

Ali Mivule

November 6th, 2014

No comments

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye kyaddaaki avuddemu omwasi ku muyambi we Sam Mugumya eyakwatibwa e Congo ku bigambibwa nti yetaba mu bikolwa by’ekiyekera. Besigye ategezezza nga bino bwebiri eby’obufuzi nga kigendereddwamu kutiisatiisa bavuganya gavumenti nga okulonda kwa 2016 tekunatuuka. Besigye agamba gavumenti […]

Ogwa Namubiru gujulidde

Ali Mivule

November 6th, 2014

No comments

Kkooti enkulu eyongezaayo okuwa ensala yaayo ku kujulira kw’omusawo eyasingisibwa  omusango gw’okukuba omwana empiso gyeyali yefumise nga ate alina siriimu. Ensalawo eno eyongezeddwayo  okutuusa nga 28 omwezi guno. Rose Mary Namubiru awakanya ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 3. Ono abadde alabiseeko mu kkooti eno mu maaso g’omulamuzi […]

Munnamawulire alimbye aswadde

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Bannamawulire bamanyiddwa boogera kuno na kuli. Wali obadde ku mpewo n’owulira ng’aliko akulimba Kati mu ggwanga ya Bungereza, abadde ku mpewo asabye ettaka limumire bw’awakanya nti Ireland teri mu Bungereza Ono akanyizza kweseesa majemulukufu naye nga tewali kyakuzza Kati manyi bangi balowooza nti mbalimba

Kikungwe ne Kaddu Mukasa bandigenda

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Ababaka babiri okuli Sozi Kaddu Mukasa ne Issa Kikungwe boolese okugobwa mu palamenti lwabutalabikako Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga amaze okuwaayo amannya g’ababaka bano eria kakiiko akakwasisa empisa okunyonyola lwaki tebakola mirimu gyaabwe. Kaddu akiikirira bantu be Mityana mu bukiikaddyo ate Kikungwe we Kyaddondo […]

Lwakataka azzeeyo mu kkomera

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Kkooti enkulu e Masaka egaanye okuyimbula kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka Omulamuzi Margret Ouma Oguli agambye nti takakasa nti Lwakataka anaddamu okulabikako mu kkooti ssinga ayimbulwa Omulamuzi era agambye nti omukulu ono asobola n’okuyingirira okunonyereza kwaabwe n’atta omusango. Bannamateeka ba Lwakataka babadde basabye […]

Pulezidenti Museveni aleke amaka gamu

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Akakiiko ka palamenti akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo kagaala pulezidenti ave mu maka ge agamu gaweebwe omumyuka we Amagezi gano gaweereddwa abakungu okuva mu minisitule ekola ku nsonga z’abakozi abalabiseeko mu palamenti okunyonyola ku alipoota wa ssababazi w’ebitabo bya gavumenti Ababaka ku kakiiko kano akakulirwa Alice […]

Ab’owino balwana

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe basula emitima gibewanise  ngabalumiriza nti waliwo ababatiisatiisa okubatta Bano nga bakulembeddwaamu ssentebe w’abasuubuzi Joseph Lwanga bagamba nti bano baamaze dda okubalumbako nga bagaala kulumba ofiisi zaabwe Bino byonna bisibuka ku mpooza KCCA gyeyawera kyokka abakulembeze ba SLOA nebagiremezaawo Wabula […]