Amawulire

Bazize emikolo gy’abakyala

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Abakulembeze ba disitulikiti ye Kalungu baziriridde omubaka omukyala ow’ekitundu kino emikolo gy’okukuza olunaku lw’abakyaala nga bagamba gitegekeddwa mu budde bukyamu. Emikolo gino gyategekeddwa omubaka w’abakyala mu Kitundu kino  Florence Kintu wali ku  Yesu Akwagala Primary school wabula abakulembeze omuli ne bakansala nga bakulembeddwamu ssentebe wa […]

Akulira poliisi attiddwa

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Poliisi ye Lwebitakuli mu disitulikiti ye Ssembabule eri ku muyigo gwabatemu abase atwala poliisi ye Nakondo nebadduka n’emmundu ye. Sgt Godfrey Japyem y’atiddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero bweyabadde adda ewuwe nga ava okugula ebintu mu katawuni. Japyem y’akubiddwa amasasi mu mugongo ne mukifuba n’oluvanyuma nebadduka […]

Ebidiini bisusse

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Ababaka ba palamenti batabukidde  gavumenti olw’okwesulirayo ogwanagamba ku bidiinidiini ebyeyongera okumerukawo mu ggwanga buli lukya.   Kino kiddiridde banji ku bakulembeze b’ebidiinidiini bino okugaana bakulembeze babyo okubalibwa.   .Ababaka okuli  Reverand Bakaluba Mukasa bagamba gavumenti mpaawo kyekoze kulwanyisa nzikiriza zino eziwabya abantu nga ate zeyongera […]

Omusota gumulumbye mu kabuyonjo

Ali Mivule

November 4th, 2014

No comments

Omukyala abadde ali ku mirimu emikulu mu kabuyonjo, bimuweddeko omusoto ogwakula bwegumubozze Omukyala ono ow’emyaka 57 enzaalwa eya Thailand, omusota guno gumusimbye amannyo ku  mukono n’okugezaako okumwetoloola okumukuba ekigwo Wabula akutte olweeyo lw’ekiti n’akuba omusota guno nga bw’ayita nemuwala we omuyamba neyetawuluuza ku musota guno […]

Gavumenti etabuse ku bya Desire- Akwatibwe

Ali Mivule

November 4th, 2014

No comments

Gavumenti eyisizza ekiragiro ekiyimiriza emikutu gy’amawulire okuwandiika ku butambi bw’obuseegu obw’omuyimbi Desire Luzinda Bino bisaliddwaawo mu Lukiiko wakati w’abakulu mu poliisi ne minisita akola ku byempisa n’obuntu bulamu Father Simon Lokodo Poliisi era eragiddwa okukwata Luzinda okunyonyola wwa gyeyekubisiza ekifananyi kino na lwaki yakikola Omwogezi […]

Abazungu bafiiridde mu kabenje

Ali Mivule

November 4th, 2014

No comments

Abazungu babiri  nga bannansi b’eggwanga lya Australia  bafiiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde ku luguudo oluva e mubende okudda e mityana Akabenje kano kagudde  ku kyaalo Kisekende mu kafo akamanyiddwa nga Minzaani kilomita nga 3 ng’ova mu kibuga Mubende. Abazungu bano abatannaba kutegerekeka  mannya babadde batambulira […]

Attiddwa mu bukambwe

Ali Mivule

November 4th, 2014

No comments

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyaalo Misali e Masaka mu Nyendo , oluvanyuma lw’okugwa ku mulamba gw’omusajja agambibwa okuttibwa abantu abamuyiikidde. Omugenzi ategerekeseeko lya Kasule nga mutuuze ku kyaalo Kako e Masaka. Akulira ekyaalo kino Francis Nsubuga agambye nti abantu beebamuyise nga bamaze okugwa ku mulambo […]

Abayizi b’embuto batudde ebigezo

Ali Mivule

November 4th, 2014

No comments

Abayizi b’ekibiina ky’omusanvu bafundikidde ebigezo byaabwe olunaku lwaleero . E Kasese, abayizi abawala abaali bafumbirwa edda nga n’abamu bali mbuto bavudde gyebabadde nebagenda okukola ebigezo Akulira abalondoola amasomero e Kasese Ernest Thabugha agamba nti abawala abali embuto 10 ne bannakawere bataano beebatudde ebigezo mu ssaza […]

Muwummule mu biseera ebituufu

Ali Mivule

November 4th, 2014

No comments

Okukolera mu ssaawa ezitali za mirimu kisobola okukaddiya obwongo bw’omuntu Okunonyereza kuno kufulumidde mu kitabo ekitunuulira engeri emirimu gyegikosamu abantu Abantu bano bwebati obwongo bwaabwe bukyuuka ng’okubutereeza kitwala emyaka etaano. Abakugu bagamba nti ebizuuliddwa byakuyamba okutegeera engeri abantu gyebatandikamu okuwutta ng’abamu batuuka n’okubulwa otulo oba […]

Ssabasajja analabikako eri Obuganda

Ali Mivule

November 4th, 2014

No comments

Ssabassajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri asiimye okuggalawo empaka z’ebika ez’omwaka guno. Empaka zino za nga  16th omwezi guno e Mityana. Omuwandiisi w’akakiiko akateesiteesi k’empaka zino Joseph Kabunga ategezezza ng’omupiira ogwakamalirizo wakati we Mmamba Gabunga ne Mbogo bwegugenda okuzanyibwa mu kisaawe ky’essazza lya […]