Ebyobulamu

Temuboola balina Ebola

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

Ssabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte Ban Ki-moon avumiridde eky’okuboola abasawo abakola ku balina endwadde ya Ebola mu bugwanjuba bwa Africa Ono agamba nti mu kadde kano amawanga mangi agalina abasawo mu mawanga gano bwebadda ewaka babawula ku bantu kyokka nga mu kaseera kano abasawo bano bamugaso […]

Yaka atuuse mu malwaliro

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

Minisitule ekola ku byobulamu etegeezeza nga bw’egenda okubunya enkola y’amasanyarlaze ya yaka mu malwaliro gonna okusobola okukendeeza ku nkozesa y’amasanyalaze mu malwaliro gano. Minisita e’ebyobulamu akola guno na guli  Dr. Elioda Tumwesigye atugambye nti kino kigendereddwamu kumalawo kizibu kya nsimbi z’amasanyalaze n’amazzi okwetuuma. Tumwesigye agamba […]

Omubbi w’enkoko atuyaanye

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

E Rakai Abasajja 2 bawonye okugajambulwa abatuuze lwakubba nkoko omu n’awayo n’amakage awone akaduukulu. Joseph Ssegawa ne Martin Sseruwuge bonna nga batuuze ku kyalo Lusese bebawonye okugajambulwa oluvanyuma lw’okusamgibwa n’eminyonyi gino egiteberezebwa okuba emibbe. Kigambibwa nti bano baamenye ekiyumba kya mukyaala  Annet Namatovu eky’enkoko nebabbamu […]

Besigye alya butaala- ogumu ku misango gye gugobeddwa

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye ne banne abalala balya butaala. Kkooti ya Buganda Road egobye omusango ogubadde gubaleppusa ogw’okukuba enkugaana ezimenya  amateeka. Omulamuzi wa kkooti eno  Lillian Bucyana ategezezza nga oludda oluwaabi bwelulemeddwa okuwa obujulizi obulumika abantu bano. Besigye abadde avunanibwa ne […]

Aba FDC batabuse ku muntu waabwe eyakwatiddwa

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

Ab’ekibiina kya FDC batadde gavumenti ku ninga eleete mangu omuyambi w’eyali ssenkagale w’ekibiina kyabwe Dr. Kiiza Besigye mu kkooti. Sam Mugumya y’akwatibwa wiiki ewedde e Congo lwakwetaba mu bikolwa by’ekiyeekera. Omwogezi w’amaggye g’eggwanga  Paddy Ankunda agamba  Mugumya kigambibwa nti aliko ekibinja ky’abayeekera kyakwataganye nakyo okwagala […]

Ekidyeri tekitambula

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

Abatuuze mu disitulikiti ye Kalangala beecanze lwakidyeri kibatambuza okufa. Ekidyeri kino ekya MV Amani kyekibadde kisaabaza abantu wakati wa Entebbe ne Kalangala oluvanyuma lw’ekya  MV Kalangala okutwalibwa e Mwanza okukanikibwa. Omugoba w’ekidyeri kino Michael Okwalinga ategezezza nga ekidyeri kino bwebakiyimirizza nakyo oluvanyuma lw’okufa. Omubaka w’ekitundu […]

PLE atandise- awamu bakereeye

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

Nga ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu ebyakamalirizo bikyagenda maaso,waliwo omusomesa akwatiddwa poliisi y’e Nateete ku bigambibwa nti yabbidde abayizi ebibuuzo. Ono  nga musomesa ku ssomero erimu e Nateete  kigambibwa nti ekiro y’asangiddwa nga asomesa abayizi n’empapula ezigambibwa okubeerako  ebibuuzo byenyini ebituuliddwa amakya galeero. Nga ayogerako nebannamawulire amakya […]

Uganda nyweevu- Gavumenti ku Burkina Faso

Ali Mivule

November 1st, 2014

No comments

Uganda ekakase mu demokulasiya nga gavumenti tesobola kuvuunikibwa nga bwebyabadde mu Burkina Faso. Omukulembeze w’eggwanga lya Burkina Faso yavuunikiddwa mu lunaku lumu oluvanyuma lw’okwagala okweyongeza ekisanja yadde ng’abantu be abafuze okumala emyaka 27. Omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ku nsonga z’ebyobufuzi Moses Byaruhanga agamba nti abantu […]