Amawulire

Besigye alya butaala- ogumu ku misango gye gugobeddwa

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

Besigye free

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye ne banne abalala balya butaala.

Kkooti ya Buganda Road egobye omusango ogubadde gubaleppusa ogw’okukuba enkugaana ezimenya  amateeka.

Omulamuzi wa kkooti eno  Lillian Bucyana ategezezza nga oludda oluwaabi bwelulemeddwa okuwa obujulizi obulumika abantu bano.

Besigye abadde avunanibwa ne loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago, meeya we Kawempe Mubarak Munyagwa ,akulira abakyaala mu FDC  Ingrid Turinawe n’abalala.

Omwezi oguwedde abakulembeze bano nga bayita mu munnamateekawabwe  Earnest Kalibala baasaba kkooti egobe omusango guno kubanga mpawo mujulizi yali yesowoddeyo kubalumiriza.

Emisango egivunanibwa bano gyekuusa ku by’okukuba enkungaana wansi w’ekisinde kya 4GC mu Kampala omwaka oguwedde.

Bano era bakyeyanjula mu kkooti e Kabale ku by’okukuma omuliro mu bantu.