Amawulire

Aba FDC batabuse ku muntu waabwe eyakwatiddwa

Ali Mivule

November 3rd, 2014

No comments

Mugumya

Ab’ekibiina kya FDC batadde gavumenti ku ninga eleete mangu omuyambi w’eyali ssenkagale w’ekibiina kyabwe Dr. Kiiza Besigye mu kkooti.

Sam Mugumya y’akwatibwa wiiki ewedde e Congo lwakwetaba mu bikolwa by’ekiyeekera.

Omwogezi w’amaggye g’eggwanga  Paddy Ankunda agamba  Mugumya kigambibwa nti aliko ekibinja ky’abayeekera kyakwataganye nakyo okwagala okuvunika gavumenti.

Kati ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC  Alice Alaso agamba omuntu waabaw esibiddwa ebbanga erisukka mu ly’alina okubeera mu kaduukulu kale nga asana kuleetebwa mu kkooti asomebwe omusango gwe.

Yye omwogezi wa FDC John Kikonyogo  ategezezza nga bwebalagidde bannamateekabaabwe okuwandikira amaggye mu butongole galeete Mugumya mu kkooti.