Amawulire

Kikungwe ne Kaddu Mukasa bandigenda

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Kadaga

Ababaka babiri okuli Sozi Kaddu Mukasa ne Issa Kikungwe boolese okugobwa mu palamenti lwabutalabikako

Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga amaze okuwaayo amannya g’ababaka bano eria kakiiko akakwasisa empisa okunyonyola lwaki tebakola mirimu gyaabwe.

Kaddu akiikirira bantu be Mityana mu bukiikaddyo ate Kikungwe we Kyaddondo mu bukiikaddyo

Kadaga agambye nti ababaka bano ababiri bayitirizza okwoosa ate nga tebamutegeeza lwaki tebakiika

Kadaga azzeemu okulabula ababaka ku kwebulunkanya ku mirimu kyokka era n’alabula n’abo abajja okusayininga nebabulawo

Ssinga omubaka wa palamenti agaana okwetab mu ntuula 15 nga tawaddeeyo kunyonyola, aba agobwa

David Sejusa ne Tonny Kipoi beebamu ku bakaloza ku bukambwe bw’etteeka lino.