Amawulire

Besigye ayogedde ku by’obuyambi we- mutiisatiisa

Ali Mivule

November 6th, 2014

No comments

Besigye Lukwago at a conference

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye kyaddaaki avuddemu omwasi ku muyambi we Sam Mugumya eyakwatibwa e Congo ku bigambibwa nti yetaba mu bikolwa by’ekiyekera.

Besigye ategezezza nga bino bwebiri eby’obufuzi nga kigendereddwamu kutiisatiisa bavuganya gavumenti nga okulonda kwa 2016 tekunatuuka.

Besigye agamba gavumenti ya Uganda ekikola mu bugenderevu okulemesa ab’oludda oluvuganya nga babasibako emisango gy’obuyeekera.

Ono kati ayagala gavumenti ya Congo n’ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu boogere ku nsonga ya Mugumya okulaba nga eddembe lye terityoboolwa.

Okusinziira ku mwogezi w’amaggye g;eggwanga Lt. Col Paddy Ankunda, Mugumya y’akwatibwa mu buvanjuba bwa Congo nga awandiisa abantu okuyingira obuyeekera.

Ebyo nga bikyali bityo ekibiina ky’amawanga amagatte kitegezezza nga abantu abasoba mu 200 bwebakakwatiba munda mu ggwanga lya Congo ku byekuusa ku bulumbaganyi obwakolebwa ku bantu baabulijjo mu ssaza lye Kivu.

Omwogezi w’ekibiina kino o Stephane Dujarric ategezezza nga abantu abawerako bwebatiddwa mu bulumbaganyi buno nga era olukongoolo lutereddwa ku bayeekera abatigomya Uganda aba ADF.