Amawulire

Lwakataka azzeeyo mu kkomera

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Lwakataka new

Kkooti enkulu e Masaka egaanye okuyimbula kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka

Omulamuzi Margret Ouma Oguli agambye nti takakasa nti Lwakataka anaddamu okulabikako mu kkooti ssinga ayimbulwa

Omulamuzi era agambye nti omukulu ono asobola n’okuyingirira okunonyereza kwaabwe n’atta omusango.

Bannamateeka ba Lwakataka babadde basabye nti omuntu waabwe ayimbulwe kubanga alina obulwadde obuzibu nga yeetaga kujjanjaba

Bano nga bakulembeddwaamu Hassan Kamba era bagambye nti ddembe lya Lwakataka okweyimirirwa era ng’alina n’ebimwetaaza okuba ng’ali butaala

Wabula ne munnamateeka wa gavumenti David Bakibinga bino abiwakanyizza ng’agamba nti bino tebimatiza era omulamuzi n’akkiriziganya naye

Lwakataka avunaanibwa kutta bantu abalumbibwa mu maka gaabwe e Rakai.