Amawulire

Akafubo e Makerere- Abasomesa balemedde ku nsonga

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Abakulira ettendekero lye Makerere bevumbye akafubo n’abasomesa ku nsako yaabwe ey’ebitundu 70% ezirina okuva mu yunivasite eno wabula nga babadde tebanazifuna. Olukiiko luno lukubiriziddwa amyuka ssenkulu avunanyizibwa ku byenjigiriza  Dr. Okello Ogwang n’akulira eby’ensimbi ku ttendekero  Prof. Barnabas Niwangwa. Abasomesa b’ettendekero lino nga bayita mu […]

Amawanga gasisinkanye ku Ebola

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Ba minister b’ebyobulamu okuva mu mawanga 11 basisinkanye mu kibuga kya Ghana ekikulu Accra okutema empenda ez’okuziyizaamu obulwadde bwa Ebola okwongera okutirimbula abantu. Obulwadde buno buli mubugwanjuba bwa Africa nga bwakatta abantu 468 ate ng’abali mu lusanvu nabo bali ku bitanda. Obulwadde buno buli mu […]

Omusirikale atuuyanye

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

Waliwo olugero olugamba nti kyenkola bannange sagaala bakinkole ng’omubbi bamubbye Kati nno n’omu poliisi abadde avuga endiima ng’ate bw’ayogerera ku ssimu kimutuuseeko omugoba wa kiroole bw’amuyimirizza Dereeva wa kiroole ono alumirizza omupoliisi ng’obwedda bw’amulondoola era nga kibadde kizibu okwegaana Ofiisa gyebigweredde ng’akkirizza omusango bw’awaabiddwa mu […]

Ono Obubi abututte mu Banka

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

Kati abantu abamu ensonyi baazinaba ku maaso. Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omusajja akoze ekitasuubirwa bw’ayingidde banka ya Barclays neyeyambira okumpi n’abantu webasimba okufuna ssente buli omu ng’atunula. Omusajja ono alabise nga mukkakamu ekyetaago kye alabika abadde akooye okukimalira mu kabuyonjo kko ye kalumbe banka. […]

Obulambuzi bwetaaga nkolagana

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi agaddewo  omwoleso gw’ebyobulambuzi  mu lubiri e Mengo, n’obubaka eri Obuganda okukolagana ne  gavumenti  yawakati okukulakulanya eby’obulambuzi mu Uganda. Bw’abadde ayogerako eri obuganda, ssabasajja Kabaka asiimye abaana bamasomero olw’okujjumbira omwoleso,n’agamba nti kigenda kuyamba emiti emito okumanya by’obuwangawa kko n’ennono […]

Pulezidenti Museveni azzeemu okugugumbula abagaba obuyambi

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni  atageezeza nga Uganda kko ne  n’amawanga ga Africa gonna okutwalira awamu bwegateetaga buyambi bwabazungu okusobola okukulakulana Pulezidenti okwogera bino  abadde mu lukungaana olwetabiddwaamu enzikiriza ez’enjawulo e Munyonyo, nga n’abalwetabyeemu bavudde mu nsi yonna Kakati ono agamba nti  Africa erina […]

Abakukusa abantu- abawala bangi baluguddemu

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

Ababadde bakukusa bannayuganda okubatwaala ebweru okukuba ekyeeyo ate nebabazza mu birala poliisi ebawenja Bano bategerekese nga Yunusu SSemakula n’omulala ategerekeseeko erya Katongole nga baliko omuwala gwebatwaala mu United Arab Emirates nebamusuula eyo era n’atulugunyizibwa bya nsusso Omuwala ono yasobola okudduka gyebaali bamutulugunyiza era bweyatuuse kwekuwaaba […]

Bannayuganda 2 bawanikiddwa ku kalabba

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

Bannayuganda babiri bawanikiddwa ku kalabba mu ggwanga lya China.   Kiddiridde ababiri bano okusingisibwa omusango gw’okukusa enjaga.   Omar Ddamulira ne Ham Andrew Ngobi.   Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Fred Opolot agamba nti bannayuganda basaanye okwewala ebikolwa nga bino okwewala okugwa […]

Bakoze empale mu watermelon

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

Aba China kyebatayiiye nga tekiriiyo Bano kati wetwogerera nga bayiiyizza empale enkole mu watermelon   Watermelon eno bagikalakatamu ebimyuufu nga bagisazeemu omulundi gumu n’evaamu ekibakuli   Ekibakuli kino kwebassa amagulu era nga bagamba nti kino kyakuyamba nnyo abaana mu biseera by’omusana kubanga ekikuta ky’ennannansi tekiyitamu […]

Omwanguye amasiro- Katikkiro

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

Katikiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga  asinzidde ku masiro gaba ssekabaka e Kasubi n’akubiriza Kampuni ekola omulimo gw’okuzimba amasiro gano okugwanguya  ku mirimu gisobole okugweera mu budde. Kino kiddiridde Nalinya w’amasiro gano Namikka okuvaayo neyemulugunya ku ngeri y’akasoobo emirimu gyegibadde gitambulamu. Katikiro ategezezza nga obuganda […]