Amawulire

Kyambogo eruyiseeko

Ali Mivule

July 3rd, 2014

No comments

Ettendekero ly’e Kyambogo lifunye ekiwandiiko okuva mu kkooti ekiyimiriza okutunda ettaka ly’ettendekero lino. Kino kiddiridde ekiwandiiko ekyafulumizibwa omulamuzi Irene Akakwasa oluvanyuma lw’abaali abakozi b’ettendekero ly’abasomesa erye Kyambogo nga bakulembeddwamu ategerekese nga Nambirige n’abalala 53 okukwanga kkooti ekiwandiiko nga baagala kuliyirirwa obuwumbi 3.5. Kino kyawaliriza Kkooti […]

Obutujju- amaggye ne poliisi bakufuukuzza ekibuga

Ali Mivule

July 3rd, 2014

No comments

   Kyaddaaki ekikwekweto ky’ebyokwerinda  ekikoleddwa amagye n’apoliisi okwetolola ekibuga Kampala kikomekerezeddwa. Ebyasoose byalaze nga bwekikoleddwa olw’abatujju abaatisizza okulumba ekibuga ,ate  okuvaako mu nsonda z’amagye netukitegera  nti kuno kubadde kukebera kwabulijjo okwongera okunyweza eby’okwerinda mu kibuga. Amagye ne poliisi erwanyisa obutujju bakedde kufuuza  kumpi mu buli […]

Yakebeka n’abasajja 100- abakubyeemu akatabo

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Omukyala eyakebaka n’abasajja abasoba mu mutwalo omulamba asazeewo okubakubamu akatabo Mu katabo kano omukyala ono ayogera ku birungi n’ebibi by’alabye mu basajja era ng’abalojja Omukyala ono abadde akuba obwamalaaya okumala emyaka 15 era nga buli gweyasisisnkana amwogerako bibye Mu katabo ke agamba nti abasajja abafunyeemu […]

Envunza zibali bubi

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga esabiddwa okuyingira mu lutalo ku nvunza mu disitulikiti ye Namutumba. Kigambibwa okuba ng’abantu abasoba mu 10 beebatwalibwa mu ddwaliro lye Nsinze health center 4 ng’obuzibu nvunza. Omubaka omukyala owe Namutumba Florence Mutyabule agamba nti abasinze okukosebwa baana okuva mu […]

Abe Nakasero babanyaze

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Abasuubuzi mu katale ke Nakasero bagaala gavumenti ekome okuwa lisinsi ebibiina by’obwegassi abantu byebamanyi nga Sacco. Kiddiridde ekibiina ekimanyiddwa nga Asalam SACCO okudduka n’obukadde bwaabwe ataano bwebabadde bakaterekawo. Abasuubuzi bano bagamba nti buli omu yasasula emitwala etaano okuggulawo akawunti era nga babadde kati bawezezze wakati […]

Abasawo b’ekinnansi bagaala tteeka libalambika

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Abasawo b’ekinnansi wansi w’ekibiina ekibagatta bagaala palamenti ebage etteeka erinalambika emirimu gyaabwe Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku kikula ky’abantu,akulira abasawo bano nga bakulembeddwaamu Maama Fiina bagambye nti tebakkiririza mu ddogo. Maama Fiina agamba nti etteeka eribakwatako lijja kuyamba okubawuula ku balogo kubanga ogwaabwe […]

Eyatta abayizi asibiddwa emyaka 3

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Omusajja eyakoona abayizi b’essomero lya Kololo Secondary School ku lw’okutaano asibiddwa emyaka esatu Kiddiridde omusajja ono okulemererwa okusasula obukadde 14 eza fayini. Omusajja onoa manyiddwa nga Imaam Isaac nga mutuuze we Kasubi teyegaanye misango gyakuvugisa kimama n’okuvuga nga talina biwandiiko bweyalabiseeko mu maaso g’omulamuzi Erias […]

Poliisi ekyusizza mu ba ofiisa abaliwo ng’embizzi ziri ku palamenti

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Poliisi esambazze ebigambibwa nti ewummuzizza abakyala bana okua ku palamenti gyebabadde bakuuma lwakubeera mbuto. Abakyala bano okuli Peace Mary, Namubiru Alaisa, Mirembe Rosette ne Christian Nakirya Christian  bakyusiddwa awatali kunyonyola kwonna Ababaka mu palamenti basabye dda akulira poliisi Gen Kale Kaihura okunyonyola ku nsonga eno […]

Eddagala eritta obuwuka lijja lifa

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Ensi eyolekedde obuzibu bw’okwesanga nti kumpi eddagala ly’ebiwuka lyonna lyandikoma okukola ku bantu Katikkiro wa Bungereza david Cameron agamba nti eddagala lya antibiotics oba ery’ebiwuka lingi terikola ku bantu abamu naddala ssinga balikozesa okumala ebbanga. Ono agamba nti bbo nga Bungereza kati batandise okwetegereza eddagala […]

Abasawo abeeranga batulemye okulondoola-gavumenti

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Akakiiko k’ebyempuliziganya kakkirizza nga bwekatalina busobozi kulondoola abasawo b’ekinansi abeeranga ku mikutu gy’amawulire. Bw’abadde alabiseko mu maaso g’akakiiko ka palamenti akakola ku kikula ky’abantu , akola nga akulira akakiiko kano  Jonas Muhoozi agambye  nti bafuna okwemulugunya kungi okuva eri abantu ne poliisi wabula nga mpaawo […]