Amawulire

Akafubo e Makerere- Abasomesa balemedde ku nsonga

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

MUK

Abakulira ettendekero lye Makerere bevumbye akafubo n’abasomesa ku nsako yaabwe ey’ebitundu 70% ezirina okuva mu yunivasite eno wabula nga babadde tebanazifuna.

Olukiiko luno lukubiriziddwa amyuka ssenkulu avunanyizibwa ku byenjigiriza  Dr. Okello Ogwang n’akulira eby’ensimbi ku ttendekero  Prof. Barnabas Niwangwa.

Abasomesa b’ettendekero lino nga bayita mu kibiina kyabwe ekibataba, baawadde abakulira ettendekero lino okutuusa ku lw’okutaano luno nga ssente zaabwe bazifunye oba ssikyo beediime.

Gyebuvuddeko ekibiina ekigatta abasomesa bano kyali kiwadde abakulira ettendekero lino amagezi obutaggulawo lusoma lupya nga ensimbi zaabwe ez’emyezi okuli May ne June ezisukka  mu buwumbi 4 tezinasasulwa.

Omwogezi w’ekibiina kino Luis Kakinda agamba kati bakusalawo eky’okuzzaako nga bavudde mu nsisinkano eno n’abakulira ettendekero lino.

Omwaka oguwedde olukiiko olufuga ettendekero lino lwategeeza ng’abasomesa bwebaali bagenda okusasula ensako eno oluvanyuma lw’okwekalakaasa okumala ssaabbiiti bbiri.