Amawulire

Obulambuzi bwetaaga nkolagana

Ali Mivule

July 1st, 2014

No comments

SSabasajja kabaka leero

Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi agaddewo  omwoleso gw’ebyobulambuzi  mu lubiri e Mengo, n’obubaka eri Obuganda okukolagana ne  gavumenti  yawakati okukulakulanya eby’obulambuzi mu Uganda.

Bw’abadde ayogerako eri obuganda, ssabasajja Kabaka asiimye abaana bamasomero olw’okujjumbira omwoleso,n’agamba nti kigenda kuyamba emiti emito okumanya by’obuwangawa kko n’ennono .

Ng’ayogerera ku mukolo gwegumu , Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agambye nti bakwongera okukolagana n’amawanga amalala okuleeta enkulakulana

Katikkiro yasoose kulambula mulimu ogukolebwa e Kasubi ku masiro era n’akubiriza abazimba okwongeramu obwangu