Amawulire

Abasuubuzi bafunye paaka

Ali Mivule

September 16th, 2013

No comments

Ekitongole  kya KCCA kiwadde olukusa abaddukanya akatale ka USAFI okubeerawo ne paaka ya taxi. Kino kigendereddwaamu kuyamba mu kukendeeza omugotteko. Omwogezi we kitongole kya KCCA Peter Kawujju agamba nti bawadde aba USAFI  ekiseera kya myezi 12 nga baddukanya paaka ya taxi nga yakukozesebwa emmotoka ezikozessa […]

Ekisaawe kye Nakivubo tekiri ku pulaani

Ali Mivule

September 16th, 2013

No comments

Kampala capital city authority akanze nga bw’egenda okuyimiriza eby’okuddabiiriza ekisaawe kye Nakivubo. Kino kiddiridde ebigambibwa nti abakiddabiriza bavudde dda ku pulaani Ab’ekisaawe kino bakkirizibwa okuzimba ekikomera kyokka nga KCCa egamba nti bano bali mu kuzimba maduuka Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti agambye nti […]

Omubbi akubiddwa amasasi

Ali Mivule

September 16th, 2013

No comments

Omusajja omu agambibwa okubeera omubbi akubiddwa amasasi agamuttiddewo . Ono abadde ne banne mukaaga e Ntinda. Abamu ku bano baali bakozi mu kkampuni y’amasimu eya MTN nga babadde bamenya muterekebwa byuuma. Omwogezi wa poliisi mu kampla n’emiriraano, Ibin Senkumbi agamba nti abazigu bano babadde n’emmundu […]

Amasomero gakuggulawo k’abe lubaale oba Katonda

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Gavumenti egaanye ebyokutiisibwatisibwa abasomesa era newera nga amasomero bwegajja okuggulawo k’abe lubaale oba katonda. Minisita w’ebyenjigiriza  Jessica Alupo agamba tewali agenda bateekako kazito kubakozesa nsobi era bakuggulawo amasomero gonna ku bbalaza. Alupo wabula era yewunya lwaki ate abasomesa ababadde bateesa ne gavumenti babijjemu enta ku […]

Kadaga atabuse

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Speaker wa parliament Rebeca alitwala Kadaaga ,avudde mu mbeera n’agaana ba minister bonna kko n’abakulira obukiiko bwa palamenti  okuddamu okumala gafuluma eggwanga. Kino kivudde ku babaka bano kulemerera kukola alipoota ku  mbalirira  y’omwaka guno . Sipiika Kadaga okuva mu mbeera kiddiridde ennaku mwebalina okuleetera alipoota […]

Emmotoka esinga obutono

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Emmotoka eyakasinga obutono eyingidde ebyafaayo. Emmotoka eno yenkanira ddala ng’eno abaana zebazanyisa naye ng’eno yaddala . Esabaaza omuntu omu era nga kyangu emmotoka za bulijjo okugirinnya nga tebagirabye Abantu abasinga abalabye ku mmotoka eno basigala bakuba nduulu nga balayira nti tesobola kutambula. Bangi bbo obwedda […]

Naggagga Kirumira wakukunyizibwa

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Kooti eyise bukubirire naggagga Godfrey Kirumira okuginyonyola lwaki azimba ekizimbe mu kibuga nga talina lukusa Ekizimbe ekyogerwaako kili ku luguudo lwa Nasser Mu kampala Omuwaabi wa gavumenti Kakie atugonza agambye nti, Kirumira ono akianyi bulungi nti okuzimba mu kibuga, omuntu amala kufuna lukusa nga kino […]

Teri South Sudan kwegatta ku mukago

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Eky’okuyingiza eggwanga lya south sudan mu mukago gwa East Africa kisimbiddwa ekkuuli. Ababaka abamu mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagamba nti aba sudan bayitirizza okutulugunya abasuubuzi okuva mu mawanga amalala nga betaaga kubonerezebwa Omubaka we Bukoto mu bugwanjuba, Mathius Nsubuga n’owe Bugweri, Abu Kauntu bagamba nti […]

Mwewale ebyobufuzi-Katikkiro

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga akubirizza abavubuka okwewala ebyobufuzi ebyawula mu mbeera z’abantu. Katikiro bwabadde asisinkanye abakulembeze ba NRM okuva mu district za Buganda, abasabye okwewala okulwanagana wamu n’okwelangira kubanga bona bantu ba ssabasajja. Mayiga agambye nti ebyobufuzi ebibi byebyavirako obwakabaka okuwerebwa mu mwaka […]

Ettaka limubisse

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Omuntu omu abikiddwa ettaka n’afa mu bitundu bye Kabalagala. Ono atategerekese manya yoomu ku basajja ababadde basima ettaka okussaayo pipo z’amazzi OC we Kabalagala, Bernard Mugerwa agamba nti omugenzi afudde kiziyiro oluvanyuma lw’okumala essaawa esoba mu emu ng’abikkiddwa ettaka lino. Bbo abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti […]