Amawulire

Enkambi y’ebyobulamu

Ali Mivule

September 5th, 2013

No comments

Enkambi abantu mwebanayita okumanya ebikwata ku bulamu bwaabwe yakubaawo ku lw’omukaaga luno. Enkambi eno amanyiddwa nga Full Woman health camp ku luno essira yakulissa ku bya ndya bya baana n’abakyala abali embuto. Omukungu mu Monitor publications, Jackie Tahakanizibwa agamba nti enkambi eno egenda okubeerawo omulundi […]

Omubaka afudde

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

Omubaka akiikirira abantu be Buhweju mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Joy Arinaitwe Kariisa afudde Ono afiiridde ku ddwaliro lya International hospital mu kampala. Omubaka ono w’afiiridde nga wa myaka 27 Abadde mu kibiina kya NRM era nga kyekibadde ekisanja kye ekisoose mu palamenti Abadde atuula ku […]

Omukwano gubatisse

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

Ebyentambula bisanyaladde abagaalana babiri bwebatandise okunyumya akaboozi wakati mu luguudo Abagoba ba motoka mu kibuga Shanghai ekya China babivuddeko eby’okuvuga nebadda mu kwelolera ku bayonta bano abatalinza kutuuka waka. Abagalana bano ekyewunyisa nti babadde mu motoka ya kupangisa era nga ne dereeva waabwe abadde ali […]

Amataba mu Sudan

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

Amataba gafuuse amataba e Nimule ku nsalo ya Uganda ne south Sudan Abasuubuzi abatunda ebintu ebivund ang’emmere beebasinze okukosebwa nga tebasobola kusala yadde okusomoka Enguudo ezisinga zzo tezikyayitikamu. Ssentebe w’abakolera e Sudan Rashid Manafwa agamba nti basobeddwa nga tebasobola kudda waka nate nga tebasobol akweyongerayo. […]

Obubbi

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

Abatuuze ku kyaalo Nabuti mu district ye Mukono baguddemu ensisi bwebagudde ku mulambo gw’omukuumi Omusajja ono ategerekese nga Justus Nahayima abadde mukozi mu maka g’omwogezi wa ministry ekola ku nosnga z’omunda mu ggwanga Kigambibwa nti ono yattiddwa abazigu abaabadde bazze okubba mu maka gano nebamutta […]

Omwana abuze e Mulago

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

Ab’eddwaliro lye Mulago batandise okunonyereza ku mwana ow’omwezi ogumu eyabbiddwa Omwana ono ow’obulenzi yabuze olunaku lwajjo. Akulira poliisi ye Mulago, Hashim Kasinga agamba nti omwana ono yabuze ku ssaawa bbiri ez’oku makya olunaku lwajjo  kyokka nga nyina yawaabye ku ssaawa kkumi ez’olweggulo Omwana ono wa […]

Abakyala abaavu bafa mangu

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

Abakyala ababeera mu mawanga agaakula edda balina emikisa gy’okuwangaala okusinga banaabwe mu mawanga amaavu Ab’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu bagamba nti abakyala batono mu mawanga agakyakula abasukka emyaka ataano. Kino kiva ku ndwadde ezibaluma ezitaggwa omuli n’ezo ezitalina kuba za bulabe Ekibiina kino kigamba […]

Obuteebaka ofunamu ndwadde za Mutima

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

Obuteebaka kimala kya bulabe nnyo eri obulamu bw’omuntu. Okusinziira ku basawo, omuntu alina okwebaka okumala essaawa munaana okubeera obulungi kyokka nga bangi tebaziweza. Bannasayansi bagamba nti obuteebaka buvaako endwadde z’omutima omuli ogwewuuba, nga gusobola n’okwesiba omulundi gumu omuntu n’afa ekibwatuukira. Abantu abaweza ebitundu 90 ku […]

Prof Gilbert Bukenya abanja

Ali Mivule

September 3rd, 2013

No comments

Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya abanja. Ono agamba nti tasasulwa nga yadde ekikumi ku nsimbi ezirina okuweebwa abaali abamyuka b’omukulembeze w’eggwanga. Ono agamba nti yakawandiika ebbula ssatu ng’abanja naye nga teri kavaayo. Bino bizze ng’ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga bakemulugunya ku ky agavumenti […]

Ba kansala babakozesa

Ali Mivule

September 3rd, 2013

No comments

Ba kansala abagaala loodi meeya Erias Lukwago agyibweemu obwesige baliko ababakozesa Abategeezezza bino beebannamateeka ba Erias Lukwago bwebabadde bafundikira okwewozaako kwaabwe mu kakiiko akanonyereza ku kiwandiiko kya ba kansala 17 abagaala agyibweemu obwesige. Bano abakulembeddwaamu munnamateeka, Medard Ssegona bagambye nti akulira abakozi mu KCCA Jennifer […]