Amawulire

Amataba e Bwaise

Ali Mivule

September 3rd, 2013

No comments

Enkuba etandise okutonnya etambuza bangi akanaginagi E Bwaise abaayo batandise okusula nga besimbye olw’amazzi agabamazeeko obwekyusizo. Enkuba ya leero erese bangi bafiiriddwa byonna byebazze bakolerera Bino bizze ng’ekitongole ekikola ku ntebereza y’obudde kyakamala okulangirira ng’enkuba bw’etagenda kusalako okutuukira ddala mu gwe kkumi n’ogumu.  

Omusajja eyatta Mukyala we

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Omusajja eyayokya mukyala we n’asirikka okufuuka evvu asinziddwa ku mere e Luzira Egesa Yoweri nga mutuuze we Kakiri mu Kayunga yayiira mukyala we amafuta nga yebase n’amala n’mukoleeza Obuzibu bwonna bwava ku mukyala ono omugenzi Thereza okugaana okugenda okuziika neighbor eyali efudde nga bba bweyalia […]

Embaga y’embwa

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Mu ggwanga lya Srilanka gavumenti etaddewo okunonyereza ku mbwa za poliisi 18 ezagattiddwa mu bufumbo. Embwa zino zagattiddwa ku mbaga makunule eyasombodde abantu okwerolokera Wabula minister wa Srilanka akola ku by’obuwangwa agamba nti embaga eno teriiyo era yavvodde ennonno ku bufumbo.   Poliisi yeetonze dda […]

Ono amanyi laavu

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Omusajja omubuusi w’okumwezi akoze akatiisa eri muganzi we Omusajja ono David Osario abuse n’awandika ku mwezi ng’asaba muganzi we akkirize okumufumbirwa Bwebityo omwezi gutuuse negweyoleka n’amusaba atunule waggulu. Omuwala bimusobedde okulaba ng’asomako ebigambo ebimusaba obufumbo era mu ssanyu ery’ekitalo n’akiriza okumwagala  

Kaka azzeeyo mu AC Milan

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Omusambi w’omupiira enzaalwa ye Brazil Kaka ayabulidde tiimu ya Real Madrid n’addayo mu tiimu ya AC Milan Madri yagula kaka obukadde bwa pawunda 56 kyokka nga kigambibwa okuba ng’addiddeyo ku bwereere nga tiimu zigula n’okutunda abazannyi Kaka nga yeeyawangula ekikopo ky’omuzannyi ow’ensi yonna ey’omwaka 2007 […]

Amasimu gakyaali ku mpewo

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Akakiiko akakola ku byempuliziganya kanyonyodde lwaki amasimu gatannaba kuwandiisbwa gakyaali ku mpewo Omwogezi w’akakiiko, Fred Otunnu agamba nti bakyetegereza namba zewandiisa basooke batandike okugajja ku mpewo Otunnu wbaula agamba nti kino nga kiwedde begnda kujjako amasimu ano ku mpewo Wabula bbo ekiirwanirira edembe lya bannamawulire […]

Bannayuganda ababeera ebweru bagaala mubaka

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Bannayuganda ababeera emitala w’amayanja bagaala kufuna mukiise mu palamenti Akulira ekibiina kya Oxfam International, Winnie Byanyima asabye gavumenti okutunuulira abantu bano kubanga beebatunda Uganda emitala w’amayanja Ono yabadde ayogerera mu Lukiiko olugatta bannauganda ababeera mu bukiikakkono bwa America Ono era yawadde bannayuganda bano amagezi okutwaala […]

KCCA etabukidde abatembeeyi

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Kampala capital city authority eyongedde okutabukira abatembeeyi Omuvubuka eyawatibwa ng’atembeeya engoye enkadde zonna zisanyiziddwaawo Joel Kisekka ow’emyaka 20 yagyibwa mu bitundu bye Nakivubo ng’engoye zino gy’azitundira Alagiddwa era okusasula emiitwaalo 20 oba yeebake e Luzira omwezi. Mu ngeri yeemu, abatunzi ba orbit bana batanziddwa emitwaalo […]

Ba Nabakyala bakutuula

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Ba nnabakyaala abawerera ddala 70 bakuba bataka wano okwetaba mu Lukiiko lwaabwe olusoose Olukiiko luno lutegekeddwa maama Sylivia Nagginda nga lugendereddwaamu kukubaganya birowoozo ku bizibu ebiruma abakyala, mukenenya n’ebikyalemesa abaana bawala okusoma Akulira ekibiina kya Maama Nabagereka Solome Nakaweesi agamba nti essira bagenda kulisimba ku […]

Loodimeeya agyibweemu obwesige

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Bannamateeka abawolereza ba councilor 17 abagaala loodimeeya agyibweemu obwesige basabye akakiiko okukkiriza loodimeeya agyibweemu obwesige nga ba kansala bwebasaba. Nga bafundikira oludda lwaabwe olwaleero, bano abakulembeddwaamu Kiryoowa Kiwanuka agambye nti akakiiko kaleme kwonoona budde kakkirize ba kansala bagyeeu loodi meeya obwesige kubanga bimulemye Kiryoowa agambye […]