Olwali

Embaga y’embwa

Ali Mivule

September 2nd, 2013

No comments

Sri Lanka Dogs Wedding

Mu ggwanga lya Srilanka gavumenti etaddewo okunonyereza ku mbwa za poliisi 18 ezagattiddwa mu bufumbo.

Embwa zino zagattiddwa ku mbaga makunule eyasombodde abantu okwerolokera

Wabula minister wa Srilanka akola ku by’obuwangwa agamba nti embaga eno teriiyo era yavvodde ennonno ku bufumbo.

 

Poliisi yeetonze dda okutegeka omukolo guno kyokka ng’egamba nti yakikoze okusikiriza embwa zino okuzaala.