Ebyobulamu

Abavubuka tebakyafaayo ku mukenenya

Ali Mivule

September 9th, 2013

No comments

Minisitule ekola ku by’obulamu akakasizza nti abavubuka okumala geegadanga  kyekivuddeko mukenenya okweyongera. Minisita akola ku by’obujjanjabi obusookerwaako, Sarah Opendi agamba nti abavubuka bangi balowooza nti waliwo eddagala eriweweza ku mukenenya olwo nebalowooza nti baba bawona. Opendi wabula agamba nti bakusigala nga bakola obubaka obugenda eri […]

Abasomesa bakyasibidde wali- Tetujja kusomesa

Ali Mivule

September 9th, 2013

No comments

Abasomesa basitudde buto ng’olusoma olujja lusembedde. Bano bagamba nti teri kulinnya mu kibiina okutuusa nga bongezeddwa ssente. Bano bagaala gavumenti esooke ebongeze omusaala ebitundu 20 ku kikumi. Ssabawandiisi w’ekibiina ekibagatta, James Tweheyo agamba nti abasomesa tebakyalina ssuubi mu kakiiko akateesa ne gavumenti ku nsonga eno. […]

Aba Bodaboda batabuse-Teri kutuwandiisa

Ali Mivule

September 9th, 2013

No comments

Poliisi yakugenda mu maaso n’okulawuna ekibuga okulaba nti tewabaawo mivuyo gikolebwa abagoba ba boda boda. Akulira ebikwekweto mu poliisi, Grace Turyagumanawe okwogera bino abadde ayogerako eri aba bodaboda ababadde beekalakaasa e Mulago Bano babadde batadde emisanvu mu luguudo n’okukasukira poliisi amayinja. Turyagumanawe agamba nti tewali […]

Poliisi ekuba ku nyama

Ali Mivule

September 9th, 2013

No comments

Poliisi etandise okussa mu nkola eky’okutta b’ekwatira mu bubbi Abasajja babiri, ababadde babba amafuta okuva mu geneleeta z’emirongooti gya MTN bakubiddwa amasasi. Peter Nkondwe ne Julius Nkutu babasanze lubona nga babba amafuta enkya ya leero. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Ibin Ssenkumbi agamba nti […]

Akubye embuzi empeta

Ali Mivule

September 6th, 2013

No comments

Omusajja enzaalwa ye Brazil asazeewo nti bagattibwe mu bufumbo obutukuvu n’embuzi ye. Omusajja ono ow’emyaka 74 asazeewo okumala obulamu bwe bwonna obusigadde n’embuzi ye gy’aludde nayo naye nga temwabuulirangako. Embaga egenda kubeerawo nga 13 omwezi ogujja Ekyewunyisa nti embuzi eno olugoye lwaayo lwebasoose okugigulira yalulidde […]

Teri kusasula tooyi

Ali Mivule

September 6th, 2013

No comments

Abaana abali wakati w’omwaka 1- 15 bawereddwa omukisa okukozesa kabuyonjo ku bwerere mu bitundu bye Katanga. Kino kikoleddwa okukendeza ku kumansa kazambi mu kitundu kino. Ssentebe w’ekyaalo, Hassan Wasswa agamba nti abaana bano babadde basanga obuzibu okufuna webeyambira olw’ensonga nti eziriyo za ssente.

Kisekka atankuuse

Ali Mivule

September 6th, 2013

No comments

Wabaluseewo obutakkaanya mu katale ke wa Kisekka Abasuubuzi abamu balumbye abakulembeze baabwe nga babalanga kutunda katale Abasuubuzi bano bakulembeddwaamu Hamida Nasimbwa nga bagamba nti bafunye amawulire ng’omwaka ogujja wegunatuukira ng’akatale Mye Wabula omwogezi w’akatale, Mubarak Kalungi agamba nti kino ssi kituufu nga ssinga baba bakukulakulanya […]

Ababaka abaagobeddwa bawanda muliro

Ali Mivule

September 6th, 2013

No comments

Ababaka abagobeddwa mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga baweze nga bwebatagenda kuva mu palamenti yadde kooti ebagobyeeyo. Kooti etaputa ssemateeka olwaleero eragidde nti ababaka Mohammed Nsereko, Barnabas Tinkasimire,Wilfred Niwagaba ne Theodore sekikubo bave mu palamenti ng’okuwulira omusango gwaabwe bwekukolebwa. Nga boogerako eri bannamawuwlire, ababaka bano bagambye nti […]

Bajja kutusasula

Ali Mivule

September 5th, 2013

No comments

Abasomesa e Makerere bakakasiddwa ku nsako eyabongezebwa gyebuvuddeko. Kino kiddiridde ebigambo ebisoose okuyita nga biraga nti tewaliwo nsimbi zigenda kussa mu nkola byasalibwaawo mu Lukiiko. Abasomesa bano bakkiriziganya okudda ku mirimu oluvanyuma lw’okusuubizibwa okubongeza ensako Omwogezi w’abasomesa Louis Kinda agamba nti bafunye obukakafu okuva eri […]

Aba Bodaboda bawera

Ali Mivule

September 5th, 2013

No comments

Abakulembeze b’akulembeze ba boda boda basitudde buto. Bano baweze nga  bwebatagenda kukkirizza KCCA kugenda mu maaso na kuwandiisa pikipiki kutuusa ng’egyeewo obulango obulangirira okuwandiisa kuno. Mu Lukiiko lwebatuddemu, abakulembeze bano bagambye nti bakkanya nti buli kimu kiyimirizibwe kyokka nga kibewunyisa okulaba nga KCCA terina kyeyatadde […]