Amawulire

Aba Bodaboda batabuse-Teri kutuwandiisa

Ali Mivule

September 9th, 2013

No comments

cyclists roit

Poliisi yakugenda mu maaso n’okulawuna ekibuga okulaba nti tewabaawo mivuyo gikolebwa abagoba ba boda boda.

Akulira ebikwekweto mu poliisi, Grace Turyagumanawe okwogera bino abadde ayogerako eri aba bodaboda ababadde beekalakaasa e Mulago

Bano babadde batadde emisanvu mu luguudo n’okukasukira poliisi amayinja.

Turyagumanawe agamba nti tewali nsonga lwaki abagoba ba piki bano beebakalakaasa oluvanyuma lwa KCCA okusazaamu ebirango byonna ebibadde bisaba okwewandiisa

Mu bitundu nga Kwempe, Mulago ku kisaawe, ne ku growers, abagoba bano bakubye abakozi ba KCCA ababadde bategeka okuwandiisa aba pikipiki

Bano era obwedda bakuba buli wa bodaboda gwebasanga ng’atisse omusaabaze.

Bawakanya eky’okuwandiisa piki z’obwa nnanyini n’olukale nga bwekyalangirirwa KCCA

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *