Ebyobulamu
Okugema abaana
Abaana abali mu bukadde 2 abali wansi w’emyaka etaano beebagenda okugemebwa obulwadde bw’okugongobala Enteekateeka eno egenda okumala ennaku ssatu yakubuna mu disitulikiti 37 Muno mwemuli Amudat, Buduuda,Bugiri, Buikwe, Mayuge, Kyenjojo n’endala nyingi Omukungu mu minisitule y’ebyobulamu, Jane Aceng agamba nti bagaala kukendeeza ku muwendo gw’abaana […]
Temumala galongoosa matu
Obadde okimanyi nti okulongoosa ematu go n’ojjamu omuzigo ogubamu kiyinza okuvirako okufuuka kiggala Abantu basabiddwa bulijjo okwanguwa okugenda okulaba abasawo nga tebannaba kulowooza ku byakugasokoola DR Phenekansi Bwambale okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago agamba nti okusokooza obuti mu matu kiyinza okusa amatu olwo […]
Sejjusa bumukeredde
Palamenti emaze n’egaana okwongerayo oluwumula lwa general David sejjusa nga ono amaze ebbanga ng’ali mu luwumula mu gwanga elya Bungereza. Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Rebecca Alitwala Kadaga agamba nti akizudde nga Sejjusa tali ku mirimo mitongole nga bweyasaba ,kale nga amwagala mu palamenti obutasukka […]
Abe wa Kisekka bakaaye
Wabaddewo akavuyo ku palamenti abakyala babiri okuva mu katale ke wa kisekka bwebagaaniddw okuyingira okulaba omukubiriza w’olukiik Rebacca Kadaga. Hajjati Hamida Nassimbwa ne munne Aisha Nakiranda,bakalambidde ne bawera okugumba ku parliament okutuusa nga bamulabye bamukwange ekiwandiiko kyaabwe ekyemulugunya ku nkayana eziri mu katale kano. […]
Temuddamu kuzimba Nakivubo
Ekitongole kya Kampala capital city authority kiyimiriza bunambiro okuzimba kwonna ku kisaawe kye Nakivubo. Kcca egamba abali emabega w’omulimu ,baava dda kupulaani y’okuzimba ekisenge nga bwebakkiriziganya nga kati bali mu kuzimba midaala ekitali mu pulaani. Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bazze nga balabula […]
Ekimotoka kikutte omuliro
Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje akafiiriddemu abantu 4 mu kibuga kye Kabale . Fuso eyabadde efumuuka obuweewo kigambibwa nti yalemeredde omugoba waayo neyevulungula enfunda n’oluvanyuma n’ekwata omuliro. Omuduumizi wa poliisi mu bitundu bye Kabale Olivia Wabwire ,agamba fuso eno eyabadde esabaaza abasalamala nalinnye ku waya […]
Eby’abasomesa tebinnaba kutereera
Abasomesa abeekalakaasa gavumenti ebatuunulidde n’eriiso ejjojji. Minisitule ey’ebyenjigiriza egamba nti etandise okwwebuuza ku muwi w’amagezi aowa gavumenti ku ky’abasomesa abagaanye okulinnya mu bibiina. Minisita akola ku byenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti bakuddamu okuyisa mu tteeka elikwata ku nneyisa y’abasomesa okulaba oba obutasomesa okumala ennaku eziwera […]
Akanya ku muliro
Abaziinya mooto bayitiddwa bukubirire okutaasa akanya ku muliro. Akanya kano bakataddeko oxygen okusobioola okuddamu okussa. Akanya kano era bakatadde ku byuuma ebyefananyirizaako eby’abantu Omuliro okugutte ekifo awabadde akanya kano guvudde ku masanyalaze.
Obutimba bw’ensiri
Minisitule ekola ku by’obulamu olwaleero etandise okugaba obutimba bw’ensiri mu Buvanjuba bw’eggwanga. Ono yoomu ku kawefube wa ministry eno okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu ggwanga. Omwogezi wa minisitule, Rukia Nakamatte agamba nti disitulikiti 16 zeezigenda okusooka okukolebwaako ng’abe Bukedea ne Bukwo beebagenda okusooka okubwebakamu. Nakamatte asabye […]
Tewali ssente- Museveni eri abasomesa
Pulezidenti museveni ayanukudde abasomesa n’abategeeza nga bwewatali ssente. Pulezidenti agambye nti abasomesa baddeyo okusomesa ng’ensonga zaabwe zakutunulwaamu omwaka ogujja Bino pulezidenti abyogedde asisinkanye ababaka okuva mu kibiina kya NRM mu maka ge Entebbe. Agambye nti batunuulidde bitongole biyinza kuvaamu nsimbi ng’amasanyalaze n’enguudo sso ssi ate […]