Amawulire

Omusajja asse mukyala we

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Poliisi e Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’omusajja asse mukyala we ng’amulanga bwenzi Omugenzi ategerekese nga Joan Nakisekka omutuuze ku kyaalo Kabalungi e Bukomansimbi. Omusajja ono Fred Segujja ow’emyaka 20 kigambibwa okuba nti akomyeewo ewaka nga mukyala we taliiwo era wano weyatandikidde Ono yamulumbye gyeyabadde akyadde […]

Ababbi babayiiya

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Ababbi buli lwebeyongera okuyiiya nga n’abantu bayiiya engeri y’okukuumamu ebyaabwe Mu ggwanga lya Bungereza, omusajja akozesezza enkola empa ey’okuwandiisa essimu n’eggulawo ng’ekulabye oba ng’ewunyirizza ekitundu kyo Ono yye yawandisaayo nywato ya bbeere lye. Omusajja ono alese buli omu asamaliridde bw’akutte enywanto ye n’agissa ku ssimu  […]

Embaga ya bannamaggye

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Bw’oba obadde olowooza nti abajaasi tebalina budde bwa laavu osaanye okuwulira gano Abakulembeze mu maggye bategese embaga y’ekirindi eri abajaasi ng’emigogo gy’abajaasi 70 gyegigenda okugattibwa mu bufumbo obutukuvu. Aduumira eggye ly’eggwanga Gen Katumba Wamala agamba nti bategese embaga eno okuwewula abajaasi ku byetaago by’okutegeka embaga

Okuwandiisa piki kutambula bulungi

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Kampala capital city authority ekyagenda mu maaso n’okuwandiisa pikipiki z’obwannanyini Kino kibaddewo yadde aba bodaboda bbo baali bawakanya n’ezo bwannanyini okuwandiisibwa Omwogezi wa KCCA peter Kawuju agamba nti piki eziri mu nkumi nnya mu bitaano zeezakawandisibwa Kawuju agamba nti basanyufu nti abantu bongedde okujjumbira enkola […]

Omuyindi yesse

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Poliisi etandise okunonyereza ku musajja enzaalwa ye buyindi eyejje mu bulamu bw’ensi eno. Capesh Patel ow’emyaka 35 yabuuse kuva ku kizimbe  n’agwa wansi n’afiirawo Ono abadde akolera ku tundiro ly’eddagala giyite pharmacy emanyiddwa nga good Day esangibwa ku luwum street mu kampala. Okusinziira ku beerabiddeko […]

Minisita ali mu kattu

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Spiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagidde minisita omubeezi akola ku nsonga z’abavubuka okunyonyola ku bigambo byeyayogeddde ku bakyala bambala enkunamyo. Okulagira kwa spiika kuddiridde ababaka Florence  Namayanja, Gerald Karuhanga, ne Winnie Kizza okusaba minister ono yetonde oba si kkyo alekulire Kibuule yagambye nti abakyala […]

Muggule wo aamasomero- Gavumenti eragidde abasomesa

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

  Minister akola ku byenjigiriza Jessica Alupo alagidde amasomero gonna gaggulweewo yadde abasomesa bakyagenda maaso n’akeedimo kaabwe. Alupo agamba nti newankubadde abasomesa bano basaba okwongezebwa omusaala , naye ministitule yamaliriza dda okukola embalirira ng’essira erissa ku byanguudo na buzimbi. Minister okwogera bino abadde sisisnkanyeemu abagenda […]

Amaggye gesunze abatujju

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Amaggye g’eggwanga gategeezezza nga bwegali obwerinde okwanganga abatujju. Amaggye ge gwanga Gen Katumba agamba nti bakunyweeza ebyokwerinda ku nsalo zonna kyokka ng’asabye abantu okutandika olutalo luno nga bakolagana n’abakuuma dembe. Katumba agamba nti baliko abakugu beebawerezza okuyambako mu kunonyereza yadde tebawerezza bajaasi Mu ngeri yeemu Gen […]

Tomala gafumita mubiri gwo

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Ekibiina ekilondoola ensonga z’ebyobulamu kyeralikiridde olw’abakyala abakozesa empiso okufumita emibiri gyaabwe Ekibiina kya National Institute for Health and Care bagamba nti abakyala bayitirizza okubomola emibiri gyaabwe mu ma saluuni n’awaka ate nga kyabulabe. Abasawo bagamba nti okukozesa empiso zeezimu kissa obulamu bw’abafumitibwa mu katyabaga k’okufuna […]

Okwebaka emisana kurungi eri abaana

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Okwebasa omwana omuto okumala wakiri essaawa emu ng’amaze okulya eky’emisana kimuyamba okukwata by’asoma. Okunonyereza kuno kukoleddwa  ku baana basatu abali wansi w’emyaka esatu. Abasawo bagamba nti buli mwana bweyebakako akkakkana n’okukakasa by’asoma era ng’agenda okuzuukuka ng’awummuza obwongo.