Ebyobusuubuzi

Abe wa Kisekka bakaaye

Ali Mivule

September 17th, 2013

No comments

kisekka mkt

Wabaddewo akavuyo ku  palamenti abakyala babiri okuva mu katale ke wa kisekka bwebagaaniddw okuyingira okulaba omukubiriza w’olukiik Rebacca Kadaga.

Hajjati  Hamida Nassimbwa ne munne  Aisha Nakiranda,bakalambidde ne bawera okugumba ku parliament okutuusa nga   bamulabye bamukwange ekiwandiiko kyaabwe ekyemulugunya ku nkayana eziri mu katale kano.

Bano bagamba  nti pulezdenti Museveni aludde nga agaba ensimbi nemubitalina mugaso, kale nga  betaaga nabo bayambiwe.

Abakyala bano beebamu ku kibinja ekigamba nti akatale kano waliwo abagagga abatandise okukatunda.