Amawulire

Teri South Sudan kwegatta ku mukago

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

south sudan

Eky’okuyingiza eggwanga lya south sudan mu mukago gwa East Africa kisimbiddwa ekkuuli.

Ababaka abamu mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagamba nti aba sudan bayitirizza okutulugunya abasuubuzi okuva mu mawanga amalala nga betaaga kubonerezebwa

Omubaka we Bukoto mu bugwanjuba, Mathius Nsubuga n’owe Bugweri, Abu Kauntu bagamba nti eggwanga lino lirina kusooka kusuubiza nti ssi lyakutulugunya bantu.

Bino bizze ng’eggwanga lino lyakafumuula abavuga piki bonna abatali baabwe nebawamba ne piki zaabwe ate ng’emirundi gyebatulugunyizza bannayuganda tegibalika.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *