Olwali

Munnamawulire akikoze

Ali Mivule

July 26th, 2013

No comments

Munnamawulire  abadde anyonyola banne nga bwawandiika saako n’okukuba obufananyi nga anyonyola, yeekanze akubye ekifananyi ky’obusajja mu butanwa.   Ono awulidde banne kuseka nga tamanyi kigenda maaso .   Agenze okwekanga nga mu bufananyi obwedda bwakuba mulimu akafanana obusajja bwe.

Abasomesa bakusasulwa

Ali Mivule

July 26th, 2013

No comments

Abasomesa nabasirikale ba police bakusasulwa wiiki eggya. Ministry y’ebyensimbi etegeezezza nga bwefunye obuwumbi 44 obwokusasula emisaala gy’abakozi bano. Abasomesa bakusasulwa emyeezi ebiri okuli  May ne June Omuwandiisi weggwanika ya ministry eno , Keith Muhakanizi agamba okulwawo okusasula abasomesa kyava ku ministry y’abakozi okubawa olukalala kwebasasulira […]

Eyali Akbar Godi guzzeemu okumusinga

Ali Mivule

July 26th, 2013

No comments

Kooti ejulirwamu egobye okusaba kweyali omubaka wa Arua Akbar Godi kweyawayo nga awakanya ekyokumusalira emyaka 25 olwokusingisibwa ogwokutta mukyala we Rehma Ceasar.   Abalamuzi ba kooti abasatu bategezezza nga nga obujilizi obwaweebwa kooti ye mukono obulumika Godi bumalira ddala okumusingisa omusango guno. Bano besigamye ku […]

Ba kansala beekubye engalike

Ali Mivule

July 26th, 2013

No comments

  Katemba akyagenda maaso mu kakiiko ka KCCA akawulira okwemulugunya kwa ba kansala abagala okuggya obwesige mu Lord Mayor Erias Lukwago. Bannamateeka ba Lukwago bakunyizza ba kansala okuli Adam Kyazze, Bernard Luyiga nebibasobera. Bw’abuuziddwa lwaki teyatwala byava mu mu nkiiko eze mabega Lord Mayor okuteekako […]

70 bafudde

Ali Mivule

July 25th, 2013

No comments

Abantu abasoba mu 70 beebafiiridde mu kabenje k’eggaali y’omukka Abasoba mu 140 beebalumiziddwa eggali eno ey’byana 8 bw’evudde ku njegere zaayo Kigambibwa okuba ng’eggaali eno ebadde edduka emirundi esatu okusukka ku misind ekw’elina okutambulira ate ng’eli mu kkoona Abadde avuga eggaali eno akwtaiddwa ng’okunonyereza bwekugenda […]

Jennifer Musisi gamumyuuse

Ali Mivule

July 25th, 2013

No comments

Okukunya akulira abakozi mu kampala, Jennifer Musisi kufundikiddwa Bannamateeka ba Loodi meeya nga bakulembeddwamu Abdu Katuntu beebakunyizza musisi nga kati luno lunaku lwa kubiri nga kino kibaawo. Ng’addamu ebibuuzo ebimubuuziddwa, Musisi akkiriza nti alina ebiwandiiko byeyakweka loodi meeya yadde ng’akimanyi nti y’akulira bannabyabufuzi mu KCCA […]

Agudde mu tanka

Ali Mivule

July 25th, 2013

No comments

Omusajja atemera mu gy’obukulu 42 e Kawanda agudde mu tanka y’amazzi naafirawo, Ono abadde agezaako kusika kidomola ekibadde kyalemera mu tanka eno . Omwogezi wa police mu kampala ne miriraano, Idi Bin Ssenkumbi  atutegeezeza nti enjega eno egudde ku kyalo ekimanyidwa na Wabitende e Kawanda […]

Omuliro e Kasubi

Ali Mivule

July 25th, 2013

No comments

Omuliro gukutte enyumba ya balongo  ku masiro ga ba ssekabaka e Kasubi. Tekinnategerekeka omuliro guno guvudde ku ki naye ng’abaddukirize batuuse mangu okuguzikiza nga tegunnalanda N’abazinya mooto batuuse mu kitundu kino kyokka nga basanze abantu bamaze okuguzikiza. Katikkiro wa Buganda owekitibwa Charles peter Mayiga akyaddeko […]

Abbye omufu

Ali Mivule

July 24th, 2013

No comments

Ono bukyanga bamutenda okubba abbyeemu bino. Omusajja ono ayeeyita Billy ebbye evvu ly’omufu Muliranwa yeeyafiirwa nyina nebamwokya ne evvu n’alitereka ng’abadde alitunulako okujjukira nyina. Omusajja ono b’wabuuziddwa wa gy’abadde atwala omufu n’ategeeza nga bw’abadde agyiyita enjaga y’obuwunga  

Iryn Namubiru mu kooti

Ali Mivule

July 24th, 2013

No comments

Okunonyereza ku musango ogwawaabwa omuyimbi Irene Namubiru kukyagenda mu maaso. Ono yawaaba munnabyabusuubuzi era nga yeeyali manager we Kim Tumwesigye ng’amulanga kumutikka njaga mu bugenderevu Kigambibw anti wakati w’enaku z’omwezi 1 ne 5 mu mwezi gw’okutaano mu mwka aguno, Kim ono yamusaba okumutwalira ku case […]