Amawulire

Jennifer Musisi gamumyuuse

Ali Mivule

July 25th, 2013

No comments

Musisi sweats

Okukunya akulira abakozi mu kampala, Jennifer Musisi kufundikiddwa

Bannamateeka ba Loodi meeya nga bakulembeddwamu Abdu Katuntu beebakunyizza musisi nga kati luno lunaku lwa kubiri nga kino kibaawo.

Ng’addamu ebibuuzo ebimubuuziddwa, Musisi akkiriza nti alina ebiwandiiko byeyakweka loodi meeya yadde ng’akimanyi nti y’akulira bannabyabufuzi mu KCCA

Olunaku lwaleero era okukunya musisi kwesibyeemu, bannamateeka ba Lukwago bwebalumbye omulamuzi Catherine Bamugemeirwe olw’okweyisa mu nkola etakkirizibwa

Bano bamaze nebesogga akafubo ne munnamateeka eono era nebaddamu okukunya mussi