Olwali

Asaze amasanvu n’awangula empaka

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Omukyala eyali yagejja yenna ng’awedde ku mpagala awulidde empaka z’obwannalulungi n’atabukira gymn okukakkana ng’aziwangudde Omukyala ono ow’emyaka 31 asoose kwesonyiwa bisiike olwo n’ayingira abavuganya era yayingiddewo bulungi mu kagoye akawungirwaamu enduulu n’eraya Yatandika okwekozza mu mwaka gwa 2011 nga takyamala galya era nga abadde alya […]

Amalwaliro gafa

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Embeera y’amalwaliro ennyika emitima yandivaawo mu kaseera akatali ke wala Ministry y’ebyobulamu etegeezezza nga bw’egenda okuddabiriza amalwaliro gonna agali mu mbeera embi Yakutandika n’amalwaliro 13 okwetoloola eggwanga Mu malwaliro agagenda okuddabirizibwa mwemuli erye Iganga, Kawolo, Mityana, Nakaseke , Entebbe grade B n’amalala Omwogezi wa ministry […]

Muyimbule bannamawulire

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Gavumenti asabiddwa okukola kyonna ekisoboka okuyimbula bannamawulire abakwatibwa mu S.sudan Justin Drulaze ne Hillary Ayesiga bakwatibwa mu sudan nga bagenda mu maaso n’okukola emirimu gyaabwe Gavumenti ya Sudan egamba nti bano bayingira okukola ogwa mawulire nga tebalina biwandiiko bibakkiriza kukikola Omwogezi wa ministry ekola ku […]

Obukubagano mu maka bukendedde

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Alipoota efulumiziddwa poliisi eraga nti wabaddewo kukendeera mu bukubagano mu maka. Alipoota eno eraga ebyaliwo mu mwaka 2011,2012 eraga nti abantua bafiira mu bukubagano mu maka bakendera okuva ku 181 mu 2011 okutuuka ku 154 mu mwaka 2012. Kyokka abantu benyini abakosebwa obukubagano mu maka […]

Omwana agudde mu butto

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Omwana ow’emyezi etaano ali bubi oluvanyuma lw’okugwa mu kalaayi ya butto nga yesera Maama w’omwana ono Mindu sendi nga mukonzo omwana okumugwaako mu butto abadde amuweese ku mugongo. Agamba nti akagoye keyabaddde awekesezza omwana kasumulukuse nga tategedde omwana n’agwa mu butto gweyabadde asiikiramu chipusi Abasawo […]

Dereeva wa ki loole kye Namungoona ali Luzira

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Dereeva wa ki loole ekyakwata omuliro abantu abasoba mu 40 bamale bafe asindikiddwa ku meere e Luzira Ricard Mugisha aguddwaako emisaago 51 egy’okukosa abantu n’ettemu n’omulala gumu gwa butewaaba ng’akoze akabenje. Omusajja ono teyegaanye musango gwa butaloopa ku poliisi kyokka ng’ebyokutta abantu abyegaanye bw’abadde mu […]

Wuuno atta abe Rakai

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Poliisi eyisizza ekiwandiiko ekirabula ku musajja eyakulembera okutta abantu mu district ye Rakai Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti omusajja ono ye Fred Mujulizi  nga yeeyaluka olukwe olutta omusumba Mugambe na b’omu maka ge munaana mu district ye Rakai Omusajja ono era yeeyatta n’omusajja […]

Ingrid Turinawe akwatiddwa

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Wabaddewo vvaawo mpitewo nga poliisi ekwata akulira abakyala ba FDC nebavubuka abalala 6 wali ku city hall Abawanvu n’abampi bano bakulembeddwamu aduumira poliisi ya kampala James Ruhweza era babadde bamaze ebbanga nga bagumbye wabweru. Ingrid Turinawe ne banne babadde bategeka kwekalakaasa mu ngeri y’okutambula nga […]

Eddugu lilina swagga

Ali Mivule

July 29th, 2013

No comments

Abantu abalina amasaali bangi naye obadde okimanyi nti n’ebisolo tebinyigirwa mu ttooke Mu ggwanga lya Ireland, Eddubu liyingidde mu baala nerisaba eky’okunywa Eddubu lino wabula ekyewunyisizza ababaddewo teririnze muwereeza kuleeta kyakunywa neryekandagga nerifuluma Ekirungi nti ba customer abasinga babadde mu kisenge kya bbaala ekirala era […]

Empaka z’ebitundu

Ali Mivule

July 29th, 2013

No comments

  Empaka z’emipiira gy’ebitundu giggulwaawo olunaku lw’enkya mu kisaawe kya municpaali ye Hoima Ab’oku butaka aba Kitara beebagenda okukwatagana n’abava Westnile ku saawa kkumi Ab’akakiiko akateeseteese empaka zino bataddewo emipiira ena buli bunaku Bannantameggwa b’empaka zino ab’obuvanjuba bakuzannya ab’obugwanjuba ku saawa nnya ez’okumakya