Amawulire

Omwana agudde mu butto

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

baby burns

Omwana ow’emyezi etaano ali bubi oluvanyuma lw’okugwa mu kalaayi ya butto nga yesera

Maama w’omwana ono Mindu sendi nga mukonzo omwana okumugwaako mu butto abadde amuweese ku mugongo.

Agamba nti akagoye keyabaddde awekesezza omwana kasumulukuse nga tategedde omwana n’agwa mu butto gweyabadde asiikiramu chipusi

Abasawo abekebezze omwana ono e Mulago bagamba nti omwana ono ayidde nnyo kyokka nga bakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwe.

Omukyala ono yayawukana ne taata w’abaana be ababiri ng’omukulu wa myaka mukaaga