Ebyemizannyo

Omupiira gw’amatikkira

Ali Mivule

July 31st, 2013

No comments

Nga Buganda yetegekera emikolo gy’amatikira kulwomukaaga lwa sabiiti eno,ebimu kubikujjuko byolunaku kuliko omupiira gwebika bya Baganda wakati wa’Balangira nekika kyo’Musu mukisaawe e’Nakivubo.   Omwogezi wempaka zebika,Lwanga Kamere ategezezza nga omupiira guno bwegugenda okuzanyibwa oluvanyuma lw’emikolo emitongole  egyamatikira egigenda okubeera mu Lubiri e Mengo  kulunaku olwo. […]

Aweeweeta amabeere

Ali Mivule

July 31st, 2013

No comments

  Omusajja omukugu ku by’okuyonsa ayolese okufiirwa  omulimu gwe oluvanyuma lw’abasajja okwemulugunya nti abadde aweweeta amabeere ga bakyala baabwe Yang Jun okuva mu masekkati ga China agaba nti okusomesa omukyala obulungi ku ngeri gy’ayonsaamu oba gyebamukebera kokoolo aba alina kuweweta ebbbere buli n’ategeera Ono era […]

Myaka 20 be ddu nga ssabasajja alamula obuganda

Ali Mivule

July 31st, 2013

No comments

Olwaleero bwegiweze emyaka amakumi abiri bukyanga sabasajja kabaka wabuganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri atuuzibwa ku namulondo. Bwali bwebuti mu mwaka gwa 1993 Ssabataka Ronald Muwenda Mutebi natuuzibwa ku namulondo wali ku kasozi naggalabi nafuuka kabaka wa Buganda okusikira kitaawe ssekabaka Edward Mutesa 2. Ebikujjukuzo byatandise […]

Essomero eddala lyekalakaasizza

Ali Mivule

July 31st, 2013

No comments

Abayizi be somero lya siniya erya  kidera e kamuli besuddemu julume ne bekalakaasa. Bano bokyezzan’akatale akaliranyeewo. Ekibaggye mu mbeera kuzuula nti abasomesa babadde tebawangayo nsimbi zaabwe ez’ebibuuzo by’okwegezesaamu Patrick Muwanga omu ku batuula ku kakiiko ke somero lino ategeezezza nti ensimbi ng’ensimbi zino bwebazigabidde abasomesa […]

Obwenzi mu basajja ssi buzaale

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Abasajja abenda nga beekwasa nti tebasobola kwekomako ku luno eby’okuwoza bibaweddeko. Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti teri Muntu atasobola kwekomako bwegutuuka ku nyonta y’omukwano Abasaw bagamba nti abantu abasinga naddala abasajja okwenda basooka kulowooza nnyo ate abamu nebagoberera ebirowoozo ebyo nga bagaala okubissa mu nkola Abakugu […]

Okunywa amazzi kurungi

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Okunywa amazzi buli omu akimanyi nti kulungi eri obulamu naye obadde okimanyi nti okunywa amazzi ng’enyonta ekuluma nnyo kyongera okweseza obwongo Abanonyereza okuva mu Bungereza ne America bagamba nti omuntu bw’aba awulira enyonta n’anywa amazzi, obwongo bwe butandika okulowooza amangu ennyo okuva ku ssaawa eyo […]

Kaawa amalako ebirowoozo

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Obadde okimanyi nti okunywa ku kakaawa kiyamba okukendeeza obulabe bw’omuntu okwetta. Abanonyereza okuva mu ssomero lya Havard okuzuula bino bagezesezza ku bantu emitwalo mwenda. Ku bano emitwaalo ena babadde bakyala Abantu bano babadde banywa kakaawa okumala emyaka ena,. Kaawa ono babadde bamunyweera mu chai, mu […]

Okuzannyamu kirungi

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Abaana abato betaaga okubeera nga babuukabuuka okukuuma emitima gyaabwe nga gikuba bulungi Abasawo bulijjo bagamba nti abaana abali wansi w’emyaka 10 balina okuzannya mu wakiri essaawa emu buli lunaku naye kati ate kizuuliddwa nti tekimala. Abakugu kati bagamba nti omwana ali wansi w’emyaka 10 alina […]

Omutima gusinga kutta bakyala

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Obulwadde bw’omutima butta abakyala okusinga ku basajja Kino kiva ku misuwa gyaabwe egy’oku mutima egitambuza omusaayi okuzibikira. Abanonyereza okuva mu ggwanga lya America bagamba nti obulwadde bw’emisuwa gy’omutima okuzibikira bwetaaga kujjanjaba mu ngeri za njawulo mu bakyala okwawukanako nga bwegubeera ku basajja Kigambibwa okuba nti […]

Eddwaliro lya Buganda

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Obwakabaka bwa Buganda butandisewo eddwaliro e Bwaise Abavubuka abayisiraamu okuva mu Buganda nga bali wamu ne gavumenti y’eggwanga lya Brunei beebakulembeddemu omulimu guno oguwemmense akawumbi kamu mu obukadde 200 Eddwaliro lino lisangibwa mu zone ya Bwaise 1 mu division ye Kawempe Eddwaliro lino erimanyiddwa nga […]