Ebyobulamu

Omutima gusinga kutta bakyala

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

heart

Obulwadde bw’omutima butta abakyala okusinga ku basajja

Kino kiva ku misuwa gyaabwe egy’oku mutima egitambuza omusaayi okuzibikira.

Abanonyereza okuva mu ggwanga lya America bagamba nti obulwadde bw’emisuwa gy’omutima okuzibikira bwetaaga kujjanjaba mu ngeri za njawulo mu bakyala okwawukanako nga bwegubeera ku basajja

Kigambibwa okuba nti abakyala obukadde munaana n’ekitundu beebafa obulwadde bw’omutima buli mwaka.

Kino kitegeeza nti obulwadde bw’omutima bukwata kyakusatu mu kutta abakyala.

Ekyewunyisa nti abakyala ate beebasinga obutagenda mu malwaliro olw’emilimu emingi gyebaba nagyo ewaka

Mu ngeri yeemu, abasaow bano era bakizudde nti omuntu okubeera omusanyufu nga talina birowoozo kiyamba omutima gwe obutalwala

Dr Lisa Yanek ng’ono musomesa agamba nti omuntu gy’akoma okwenakuwaza n’omutima gwe okwenyika era nebigweera ng’afunye obulwadde.

 

Wabula omusawo ono agamba nti omuntu okubeera omusanyufu ssi kyangu nga kisinziira ne ku kikula ky’omuntu ng’abasinga babeera banyiivu buli kaseera

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *