Amawulire
Munyagwa bamuwenja
Kkooti eragidde nti meeya we Kawempe Mubarak munyagwa akwatibwe. Munyagwa abadde alina okulabikako mu kooti ku misango gy’okukozesa olukujjukujju okwezibika ensimbi kyokka nga talabiseeko Kigambibwa okuba nti Munyagwa ono yezibika emitwaalo 100okuva eri Karim Nsubuga n’emitwaalo etaano okuva eri Mohammad Kawuku ng’abasuubizza okubafunira emilimu mu […]
Ennaku z’ekisiibo zino nkulu
Abayisraamu bakuutiddwa ku makulu agali mu nnaku 10 ezisemba mu kisiibo Ssabawandiisi ku bukulembeze bwe Kibuli Muhamed Kisambira agamba nti abasiraamu bonna basaanye okutandika okulinda ekiro ekyamagero nga kino kigwa ku nnaku ez’ensunsuuba Wabula Kisambira era asambazze ebigambibwa nti wabaawo ekintu ky’enjawulo ku nnaku zino […]
Omusajja w’ebbuba afumise mukyala we ebiso
Omusajja eyayawukana ne mukyala we ate amaze n’amulumba n’amufumita ebiso Omukyala ono Nowerina Nakabugo owe Nakwero ekisnagibwa ku lwe Gayaza yayawukana ne Bosco Lukwago kyokka nga yasobeddwa okumulaba g’amulumbye mu muzigo gwe ekiro ng’amulangira obwa malaaya Yamufumise emirundi ebiri ku mutwe kyokka nga basobodde okumutaasa […]
Eby’okwerinda gulugulu
Poliisi egenda kuyiibwa ku lubiri e mengo ng’ebikujjuko by’amatikkira bikuuba koodi Ku lw’okusatu lwa ssabiiti eno ssabasajja lw’aweza emyaka 20 bukyanga atuuzibwa ku namulondo kyokka ng’emikolo gyayongezeddwaayo okutuusa ku lunaku lw’omukaaga Ssabasajja olunaku lw’enkya lw’agenda okusimba emiti ku luguudo lwa Kabaka anjagala nga tannaggulawo mwoleso […]
Abetta basobola okubudabudibwa
Abakugu mu nsonga z’emitwe bagamba nti waliwo ekiyinza okukolebwa okukendeeza omuwendo gw’abantu abejja mu bulamu bw’ensi eno. Abantu bano beetaga okufibwaako ennyo era ng’omuntu okutegeera nti ayinza okutta abasawo bagamba nti kyangu okutegeera omuntu agenda okwetta. Ekisooka abasawo bagamba nti abantu b’ekkika kino batera okweyawula […]
Okugejja bulwadde
Abantu abatafaayo nebagejjulukuka basaanye okuwulira ku bino Mu ggwanga lya Newzealnd, omusajja eyagejjulukuka agaaniddwa okuyingira mu ggwnaga lya New Zealand. Abakola ku bantu abayingira n’okufuluma eggwanga lino bagamba nti omusajja ono obulamu bwe buli mu bulabe nga okumukkiriza kuba kukkiriza kizibu Omusajja ono alina kilo […]
Kokoolo w’obusajja
Abasawo bakizudde nti omusajja asobola okuwangaala ne kokoolo w’obusajja okutuuka ku myaaka 10 . Kokoolo ono kyeyolese nti ajja anafuwa okwawukanako nebwegwaali emyaka ena mabega Kookolo ono mu mwaka gye 70 yali mukambwe nnyo era nga ku bantu 100 bakwata, 67 bafa mu bwangu. Abasawo […]
Okuwutta obwongo
Abanonyereza basemberedde okuzuula ekkubo ely’okuyitamu okumanya omuntu ng’agenda okuwutta. Abasawo mu kadde kano tebalina ngeri gyebayinza kumanyaamu ng’omuntu asemberera okuwutta era ng’abasinga bakola scan naye ng’obuzibu nti kizibu okumanya ng’ekirwadde kino kikyaali. Mu nkola empya, abasawo bakwekebejjanga omusaayi gw’omuntu okulaba oba mulamu oba mulwadde. Okunonyereza […]
E Kibuli beekalakaasa
Abatuuze mu zooni ya Kanakulya e Kibuli beesuddemu akambayaaya ne beekalakaasa lwa bbula ly’amasanyalaze. Bano bagamba kati wiiki ziweze 2 nga bali mu kibululu oluvanyuma lwa tulasifooma okufunamu obuzibu. Bano bazibye oluguudo lwa Kakungulu era emotoka tezikyatambula nga wazzewo n’omugotteko. Okusanyalala kw’ebyentambula kukosezza ssabadumizi wa […]
Aba Mutiplex beekalakaasa
Abakozi mu kkampuni ya multiplex ekola ku by’okuzimba bali mu kwekalakaasa Bano bamaze emyezi esatu nga tebasasulwa. Abakozi bano bagamba nti buli mwezi lweguggwaako nga babasuubiza naye nga negyebuli kati tewlai kyebalabye. Abakozi bano bali mu 200 mulimu ba engineer, abawereeza ku […]