Amawulire

Eby’okwerinda gulugulu

Ali Mivule

July 29th, 2013

No comments

Kabaka

Poliisi egenda kuyiibwa ku lubiri e mengo ng’ebikujjuko by’amatikkira bikuuba koodi

Ku lw’okusatu lwa  ssabiiti eno ssabasajja lw’aweza emyaka 20 bukyanga atuuzibwa ku namulondo kyokka ng’emikolo gyayongezeddwaayo okutuusa ku lunaku lw’omukaaga

Ssabasajja olunaku lw’enkya lw’agenda okusimba emiti ku luguudo lwa Kabaka anjagala nga tannaggulawo mwoleso ku lunaku lw’okusatu

Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Idi Ssenkumbi agamba nti bagenda kuyiwa abasirikale 2000 abali mu leeya ne unifoomu okukuuma eirembe