Amawulire

Ogw’okulya mu nsi olukwe gumusse mu vvi

Ali Mivule

March 25th, 2015

No comments

Omujaasi w’amagye ga UPDF  captain Amon Byarugaba  asingisiddwa omusango gw’okulyamu ensi ye olukwe. Kkooti y’amagye e Makindye  esingisizza kapiteeni ono omusango gw’okwetaba mu bikola by’ekiyeekera wansi w’ekibiina ky’abayeekera ekya Peoples Redemption Army rebel  ekyasimba amakanda mu Congo . Nga awa ensalaye ssentebe wa kkooti y’amagye […]

abbye omugugu

Ali Mivule

March 25th, 2015

No comments

Poliisi ye Mukono eriko omusajja gwetasizza okuva ku basuubuzi ababadde baswakidde oluvanyuma lw’okumukwata lubona nga abbye omugugu gwa munaabwe. Ono ategerekese nga Wasswa Tadeo abadde tamanyiddwa bimukwatako alagidde omwetissi amutwalire omugugu wabula ogutabadde gugwe, nanyini gwo Nakacwa Josephin agenze okujja nebamugamba nti gutwaliddwa kwekusuula enkessi […]

Afudde Waragi

Ali Mivule

March 25th, 2015

No comments

Entiisa ebutikidde abatuuze be Lugusuulu  mu disitulikiti ye Sembabule oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gwamunaabwe eyafudde waragi. Jackson Nkiranuye 40 okuva ku kyalo Kabulasoke asangiddwa nga afiiridde ku faamu ya mukamawe Perez Kwizuka oluvanyuma lw’okwekatankira entabaaza bakadde awatali kulya. Kwizuka ategezezza nga omukozi we ono bweyamusabye […]

abakyala ba NRM basisinkanye- Muka Mbabazi abaddeyo

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Pulezidenti Museveni akunze abakyala ba NRM okusomesa abantu ku ngeri y’okulwanyisaamu obwavu Bino puelzidenti abyogedde ayogerako eri abakyal a mu kibiina kya NRM abasisinkanye mu Lukiiko lwaabwe ku Imperial Royale Hotel Olukiiko luno olumaze olunaku olumu lwategekeddwa amyuka akulira abakyala mu bugwanjuba Susan Muhwezi Abakyala […]

Tekyaali Dipulooma Makerere

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Ettendekero ekkulu erye Makerere lukulekera awo okugaba dipulooma mu masomo mukaaga Omukulu mu ttendekero lino Vincent Ssembatya, agambye nti basazeewo okuyimiriza dipulooma okukendeeza ku nsimbi ezissibwa mu kuddukanya ettendekro okusobola okusobola okussa essira ku masomo ga diguli Ono agambye nti babadde bassa ensimbi nyingi mu […]

Enyonyi egudde abasoba mu 150 bandiba abafu

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Enyonyi ebadde ekubyeeko abantu 144 eremedde omugoba waayo n’egwa. Enyonyi eno eya bagirimaani egudde mu nsozi z’omuzira ezisangibwa mu Bufaransa Enyonyi eno ebadde edda Barcelona ng’eriko abagiddukanya mukaaga Omukulembeze w’eggwanga lya Bufaransa Francois Hollande agambye nti tebannategeera kivuddeko kabenje kano kyokka nga wekabadde balina okutya […]

Okunonyereza ku bya Kasiwukira kugenda mu maaso

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ebisingawo ku kuttibwa kw’omugagga Eria ssebunya eyali amanyiddwa nga Kasiwukira. Bino byogeddwa munnamateeka wa gavumenti Ruth Kabahuma mu musango namwandu w’omugenzi Sarah Nabikolo mw’avunaanibwa okutta bba. Nabikolo avunaanibwa wamu n’omupoliisi Ashraf Dedeni ne mulamu we Sandra Nankungu bwebalabiseeko mu maaso […]

Bannamawulire bakwatiddwa lwakwogera na Mbabazi

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Bannamawulire 3 bakwatiddwa amaggye ga  Special Forces command  lwakwogera ne mukyala Mbabazi nga ono ye  Jackeline Mbabazi nga tebafunye lukusa. Bano kuliko ab’olupapula lwa Daily Monitor okuli Fred Musisi, ne Dominique Bukenya  n’owa NTV  Sheila Nduhukire. Bino bibadde wali ku imperial Royale hotel ewategekeddwa olukungaana […]

Katemba ku DP- baganganye mu malaka

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Katemba yeyolekedde ku kitebe kya  DP oluvanyuma lw’omu ku bakulembeze b’ekibiina kino okulumba abakulembeze ku kyayise okuddukanya ekibiina mu ngeri ya gadibe ngalye. Eyali ssentebe wa LC3 wano e Kampala Charles Musoke Sserunjogi  nga era ye muwandiisi w’ekibiina alumbye ekitebe ky’ekibiina nga awakanya ebyavudde mu […]

Hotloaf eggaddwa

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Ab’ekitongole kya KCCA bagadde edduuka ly’emigaati erya Hotloaf  wali ku Duster Street. Edduuka lino liggaddwa lwakutunda migaati ne keeki enfu Abasirikale ba KCCA bazinzeeko ekifo kino nebatandika okukungaanya byonna byebakola nga bwebasuula mu biveera Wabula bbo abantu ababaddewo basabye abasirikale emigaati gino okugiwa abaana b’okunguudo […]