Amawulire

Katemba ku DP- baganganye mu malaka

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Dp PC

Katemba yeyolekedde ku kitebe kya  DP oluvanyuma lw’omu ku bakulembeze b’ekibiina kino okulumba abakulembeze ku kyayise okuddukanya ekibiina mu ngeri ya gadibe ngalye.

Eyali ssentebe wa LC3 wano e Kampala Charles Musoke Sserunjogi  nga era ye muwandiisi w’ekibiina alumbye ekitebe ky’ekibiina nga awakanya ebyavudde mu lukiiko lw’abakulira ekibiina kino abokuntikko olwalbadde e Masaka nti lwabadde lumenya mateeka.

Ono ayagala watekebwewo akakiiko akagenda okulondoola emitendera egyenjawulo kasooke kagonjoole emivuyo n’enjawukana mu kibiina kino nga tebanateesa bigenda kugobererwa mu kulonda kwa 2016.

Wabula nga tannamalayo kusoma kiwandiiko kye, abavubuka nga bakulembeddwamu omwogezi w’ekibiina Kenneth Kakande bamuvumbagatidde nga bamulumiriza okwanika obuziina bw’ekibiina mu lujudde.

Wabula Serunjogi aweze nga kino bwekitagenda kumulobera kwogera nsonga zimuluma nga kati ategese olukungaana lw’okutabagana ku lwokuna lwa ssabiiti eno.