Amawulire

Enkambi ya Bokoharam ewambiddwa

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Amaggye ga Nigeria gagamba nti geezizza ekitebe ky’abannalukalala ba Bokoharam mu Kibuga Gwoza Abakambwe bano abawera battiddwa ate abalala bakwatiddwa Amaggye gagamba nti kati gali mu kweruula kifo kino ekyaali kyeddizibwa abakambwe bano Bino bizze nga Nigeria yetegeka kulonda mukulembeze w’eggwanga olunaku lw’enkya

Distulikiti ye Mpigi eyisizza Embalirira ya buwumbi

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

      Disitulikiti y’e Mpigi eyisizza embalirira ya buwumbi 21 n’obukadde 400 . Ensimbi zino okusinga zakuzimba nguudo, okuyamba ku by’enjigiriza n’eby’obulamu. Eby’obulamu biweereddwa obuwumbi 2 n’obukadde 800 nga obukadde 293 zakuddabiriza ddwaliro ly’eNkozi akawaumbi kamu kasasule emisaala gy’abasawo. Eby’enjigiriza biweereddwa obuwumbi 12 nga […]

Kanisa ya Kojja wa Kony yakugalwa

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Gulu batiisizza okuggala Kanisa ya muzeeyi  Severino Lukooya nga ono ye taata w’eyali yeyita nabbi  Alice Lakwena, nga era kojja wa ssabayeekera Joseph Kony. Ssentebe wa disitulikiti ye Gulu Ojara Martin Mapenduzi agamba eka nisa eno emanyiddwa nga  ”The new Jerusalem […]

Poliisi ekkiriziganyizza ne DP

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

      Poliisi kyaddaaki ekkiriza ab’ekibiina kya DP okugenda mu maaso n’olukungaana lwabwe lwebasoose okulinyamu eggere. Gyebuvuddeko poliisi esoose kugaana lukungaana luno kugenda mu maaso oluvanyuma lwabamemba abasoba mu 100 okukungaanira wali ku Sharing Hall e Nsambya. Aduumira poliisi ye Kabalagala  Francis Chemusto y’ategezezza […]

Aba KCCa bagobeddwa

Ali Mivule

March 25th, 2015

No comments

Akakiiko ka palamenti akakola ku by’embalirira kagobye abakungu okuva mu KCCA nga bano babadde bagenze kusaba nti bongerweeyo obuwumbi musanvu Ekibagobezza butajja na munnabyabufuzi yenna Bano obuwumbi omusanvu zebeetaga za kuzimba katale ka USAFI Bano nno okutuuka nga palamenti ky’ejje eyise obuwumbi 37 ez’okugula akatale […]

Katikkiro asiimye aba kokoolo

Ali Mivule

March 25th, 2015

No comments

Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asiimye emirimo egikolebwa eddwaliro lya kookolo e Mulago, naddala mu kawefube waalyo ow’okujjanjaba ekirwadde kya kookolo wa nabaana. Katikiro okwogera bino abadde akyaddeko e Mulago mu kawefube gw’alimu w’okukukungaanya ettofaali mu bukiikaddyo bwa Kawempe. Katikiro ategeezeza nti abakyala […]

Sejusa akandudde eddoboozi ku bayambi be

Ali Mivule

March 25th, 2015

No comments

Eyali akulira ekitongole ekikessi General David Sejusa azzeemu okusaba nti abayambi be abakwatibwa bayimbulwe Abakwatibwa omukaaga kuliko ne bannamaggye nga bavunanaibwa kwetaba mu bikolwa by’ekiyekeera n’ekigendererwa ekivuunika gavumenti Ng’ayogerako eri bannamawulire, Gen Sejusa agambye nti abantu bano baludde mu kkomera ekityobola eddembe lyaabwe Sejusa era […]

Omukyala bamusse mu bukambwe

Ali Mivule

March 25th, 2015

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye  Luweero eriko abantu 2 bekutte ku byekuusa ku kuttibwa kw’omukyala ow’emyaka 40. Omulambo gw’omugenzi gusangiddwa emabega w’enyumbaye ku kyalo  Tebalyala Aduumira poliisi ye Luweero Justus Asiimwe omugenzi amumenye nga  Hadija Nakate eyalumbiddwa abantu abatanategekeka mu makage nebamusanjaga. Asiimye agamba abatemu baakozesezza […]

Muve mu kampeyini- kakiiko akalondesa

Ali Mivule

March 25th, 2015

No comments

Akakiiko k’eby’okulonda kalabudde abagenda okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo omwaka ogujja okukomya okukuba kampeyini nga tebanawebwa lukusa. Kamissiona w’akakiiko kano mu bukiika ddyo bw’eggwanga  Jenny Okello ategezezza nga okunonya akalulu bwekulina ekiseera kyakwo nga kakuyege mu kiseera kino amenya mateeka. Ategezezza nga bwebawadde dda poliisi mu […]

Aronda alabudde abakozesa abasibe

Ali Mivule

March 25th, 2015

No comments

Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga   Gen Aronda Nyakairima atadde ab’ekitongole ky’ebyamakomera ku ninga banonyereza ku bigambibwa nti waliwo abasibe abakozesebwa nga abaddu. Kino kiddiridde  abantu abatali bamu okwemulugunya nti abasibe abamu bakakibwa okulima mu nimiro z’abantu awatali kusasulwa nnusu yonna. Aronda agamba ensonga eno esaana okunonyerezebwako […]