Amawulire

Omukyala bamusse mu bukambwe

Ali Mivule

March 25th, 2015

No comments

Residents 1

Poliisi mu disitulikiti ye  Luweero eriko abantu 2 bekutte ku byekuusa ku kuttibwa kw’omukyala ow’emyaka 40.

Omulambo gw’omugenzi gusangiddwa emabega w’enyumbaye ku kyalo  Tebalyala

Aduumira poliisi ye Luweero Justus Asiimwe omugenzi amumenye nga  Hadija Nakate eyalumbiddwa abantu abatanategekeka mu makage nebamusanjaga.

Asiimye agamba abatemu baakozesezza akakisa k’enkuba eyabadde efudemba nebalumba omukyala ono asula yekka mu nyumba.

Bano basoose kumutuga nebamwambula olwo nebamusiba emikono n’amagulu omulambo nebagusuula emanju.

Baliraanwa ba Nakate 2 bebakwatiddwa okuyamba poliisi mu kunonyereza kwayo.