Amawulire

Amerika akungubagidde munnamateeka- aziikwa lwakuna

Ali Mivule

March 31st, 2015

No comments

Gavumenti ya Amerika ezzeemu okweyama okukwatagana ne Uganda mu kulwanyisa obutujju Mu bubaka bw’eggwanga lino obw’okusaasira olw’okuttibwa kw’amyuka ssabawaabi Joan Kagezi, gavumenti ya America egambye nti tekkiririza mu bikolwa bya mivuyo kubanga bya kititiizi n’asaba abantu bonna okuvaayo okulwanyisa obutujju. Gavumenti ya Amerika era etuusizza […]

Tukyazimba ebirala- Katikkiro

Ali Mivule

March 31st, 2015

No comments

Katikiro wa Buganda Charles Peter ategezeza Obuganda nga bwagenda okutandikawo polojetiki endala ezikulakulanya obuganda oluvanyuma olwokumaliriza  Masengere n’amasiro ge Kasubi. Kino kidiride abantu okusaba Katikiro, Buganda ezimbe eddwaliro lyayo erigenda okujanjba abantu. Wabula Mayiga agambye nti ensonga zino obukulembeze bwe bubiriwoozako era byakukolebwa mu banga […]

Ogw’abatujju gujulidde

Ali Mivule

March 31st, 2015

No comments

Omusango gw’abateberezebwa okutega bbomu mu 2010 nebatta abasoba mu 70 ssigwakuwulirwa olwaleero. Kino kiddiridde abamakomera okutegeeza nga bwebafunye ebiragiro okuva eri kkooti obutatwala basibe bano olw’embeera eriwo. Omwogezi w’ekitongole ky’ebyamakomera Frank Baine agamba baakusisinkanmu aba kkooti enkulu okuteesa eky’okuzzaako ku nsonga y’abasibe bano. Olwaleero omujulizi […]

Ebya Kagezi bya mpuna- poliisi enonyereza, ababaddewo boogedde

Ali Mivule

March 31st, 2015

No comments

Bannamateeka ba gavumenti baweze obutatiitiira wabula okugenda mu maaso n’omusango gw’abo abateberezebwa okutega bbomu mu kampala nezitta abantu abasoba mu 70 yadde nga munnamateeka waabwe Joan Kagezi y’atiddwa. Ssabawaabi wa gavumenti Michael Chibita agamba okufa kwa Kagezi kkonde ddene eri ekitongole ekiramuzi ssibakupondooka. Bino ssabawaabi […]

Omuwaabi wa gavumenti attiddwa

Ali Mivule

March 30th, 2015

No comments

Kikakasidwa nga omuwaabi wa government Joan kagezi bwatemuda ekiro kya leero ku saawa nga Bbiri bwabade ada mumakaage  agasangibwa  mubitundu  bye Najeera. Ono abamukubye amasasi bade abatambulira ku bodaboda, nga bano bamusanze kubufunvu [humps] bwe kiwaatule nebamukuba amasasi agamutidewo. Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Patrick […]

Supreme Mufti aweereddwa ekitanda

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

. Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Zubair Sowedi Kayongo mulwadde. Kayongo aweereddwa ekitanda ku Case hospital Omwogezi w’ekiwayi kye Kibuli Sheikh Hassan Kiirya agamba nti kituufu Supreme mufti mulwadde kyokka ng’embeera teyeraalikiriza

Eby’akayanja ka Kabaka biseetuse

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Akakiiko akatekeebwawo okunonyereza ku ngeri y’okukulakulanyamu ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba olunaku olwaleero kawaddeyo alipoota yaako eri Katikiro Charles Peter Mayiga . Akikiiko kano akakulembeddwamu Dr Kenneth Ssemwogerere  kaweebwa emyezi mukaaga okufulumya alipoota eno. Bw’abadde akwasibwa alipoota eno, Mayiga atendereza abakulu ku kakiiko kano okukola […]

Abatujju tebabatiisa- Kaihura

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti okutiisatiisa abatujju kwebakola tekujja kubakosa era bakole gyaabwe Bino bizze ng’abantu batandise okweralikirira nti okukanga kuno kwandigoba bamusiga nsigo Ng’ayogerako eri bannamwulire, Kaihura agambye nti waliwo akakiiko akassiddwaawo okulawuna ebifo byonna ebiyinza okulumbibwa abatujju Asabye abantu okubeera […]

Crest Foam ssiyakuggulwaawo kati

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

KKampuni y’emifaliso eya Crestfoam tejja kuggulwaawo okutuuka nga bafunye alipoota ku muliro ogwatta abantu mukaaga Minisita w’abakozi Kamanda Bataringaya akyaddeko ku kkolero lino,agambye nti bano basooka kusasula abaviibwaako abaabwe nga tebanaddamu kukola Ono era yenyamidde nti ekkolero eddene nga lino lirina omulyango gumu nga gweguyingira […]

Omukyala alumirizza bba anywa enjaga

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Omusajja ow’emyaka 31 asibiddwa emyaka 2 lwakusangibwa na njaga Dauda Lutwama amukalize ye mulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya City hall Elias Kakooza oluvanyuma lw’obujulizi okulaga nti ddala ono yali atambuza enjaga Omulamuzi era yesigamye ku bujulizi obutwaliddwaawo mukyala wa Lutwama n’abaana nga bagamba nti […]