Amawulire
Tukyazimba ebirala- Katikkiro
Katikiro wa Buganda Charles Peter ategezeza Obuganda nga bwagenda okutandikawo polojetiki endala ezikulakulanya obuganda oluvanyuma olwokumaliriza Masengere n’amasiro ge Kasubi.
Kino kidiride abantu okusaba Katikiro, Buganda ezimbe eddwaliro lyayo erigenda okujanjba abantu.
Wabula Mayiga agambye nti ensonga zino obukulembeze bwe bubiriwoozako era byakukolebwa mu banga tono okuva kati.
Mayiga agambye nti singa Obuganda buneyongera okuwa ettafaali Polojekiti nyingi omuli okuzimba amalwaliro, okutekawo TV ya Buganda wamu ne Baanka ezigenda okukolebwa.
Mayiga okwongera bino abadde akunganya etafaali okuva mu gombolola y’amasekati ga Kampala, era nga wetujjidde kumpewo ng’ensimbi ezisoba mu bukadde 70 zezibadde zakasondebwa.
Mu ngeri yeemu era Katikkiro asabye abaganda okubeera n’obuvunanyizibwa nga buli kimu bakikolera mu mateeka