Amawulire

Ebya Kagezi bya mpuna- poliisi enonyereza, ababaddewo boogedde

Ali Mivule

March 31st, 2015

No comments

JOan

Bannamateeka ba gavumenti baweze obutatiitiira wabula okugenda mu maaso n’omusango gw’abo abateberezebwa okutega bbomu mu kampala nezitta abantu abasoba mu 70 yadde nga munnamateeka waabwe Joan Kagezi y’atiddwa.

Ssabawaabi wa gavumenti Michael Chibita agamba okufa kwa Kagezi kkonde ddene eri ekitongole ekiramuzi ssibakupondooka.
Bino ssabawaabi abyogedde atuseeko mu kifo ewatiddwa omugenzi wali e Kiwatule.

Omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Erias Kisawuzi ayongera okunyonyola ku nsonga eno.

Bbo abantu ab’enjawulo bakyeyiwa mu maka ga munnamateeka ono nga era abamu ku batuuseko mu kifo kino kuliko minisita w’ensonga z’omunda w’eggwanga Gen Aronda Nyakayirima.

Gyo emirimu gisanyaladdemu ku ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mulago olwa poliisi okuyiibwa mu kifo kino.

Olunaku olw’eggulo omugenzi y’akubiddwa amasasi nga adda ewuwe e Kiwatule era Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza nti abaamukubye amasasi baabadde batambulra ku bodaboda era olwamaze okumukuba amasasi nebadduka.
Twayogeddeko n’abamu ku baliraanwa ba munnamateeka ono mwemuli n’abamu ku beerabiddeko n’agabwe ku kyabaddewo.

Kagezi abadde wulira emisango egy’amanyi wano mu ggwanga nga era mu kiseera kino abadde mu gwabo abateberezebwa okutega bbomu mu 2010 nebatta abasoba mu 70.

Yyo poliisi etenderezza nyo omugenzi .

Ssabapoliisi w’eggwanga General kale Kayihura ategezezza nga okuttibwa kwa Kagezi bwekuli ekkonde eddene eri essiga eddamuzi era kijidde mu kaseera ak’omutawaana nga abadde akulembeddemu okuwozesa abavunanibwa okutega bbomu ezatta abasoba mu 70 wano mu Kampala mu 2010.

Agattako nti okuttibwa kwa Joan Kagezi kisanye kwongera maanyi mu kuyigga abatemu bonna bakwatibwe.