Amawulire

Ogw’okulya mu nsi olukwe gumusse mu vvi

Ali Mivule

March 25th, 2015

No comments

Justice

Omujaasi w’amagye ga UPDF  captain Amon Byarugaba  asingisiddwa omusango gw’okulyamu ensi ye olukwe.

Kkooti y’amagye e Makindye  esingisizza kapiteeni ono omusango gw’okwetaba mu bikola by’ekiyeekera wansi w’ekibiina ky’abayeekera ekya Peoples Redemption Army rebel  ekyasimba amakanda mu Congo .

Nga awa ensalaye ssentebe wa kkooti y’amagye Maj. Gen Levi Karuhanga ategezezza nga obujulizi bwonna bwebulaze nti Kapiteeni Amon yali atendeka abayeekera mu congo nga baagala okumaamulako gavumenti.

Cap.  Byarugaba  y’akwatibwa n’eyali ssenkagale wa FDC  Dr. Kiiza Besigye n’abalala  22 ku by’okugezaako okuvunika gavumenti wakati wa 2001 ne 2004.

Banne abalala basaba ekisonyiwo wabula ye oluvanyuma lw’emyaka 10 ku alimnada nga akyakalambidde nti tegumusinga.