Amawulire
Abaana b’e Makerere balumye yafeesi zabakulu.
Bya Ritah Kemigisa. E Makerere abaana abasoma eby’okubala balumbye office z’abakulu , nga bano babalanze kulemwa kubawa byava mubibuuzo byabwe mubudde. Bano bagamba nti kati semesters 2 ezakayitawo nga tebalaba ku byaba mu bibuuzo byabwe, kyebagamba nti tebayinza kukigumukiriza Bano abaso a mu 1000 […]
E jinja East Kujaganya- Paul mwiru ye mubaka omulonde
Bya Ben Jumbe . Nakakano abatuuze be Jinja East nakakano bakyali mu kujaganya, nga kino kyadiridde akakiiko k’ebyokulonda okulangirira munna- FDC Paul Mwiru, nga eyawangudde akalulu akaakubiddwa olunaku olwajjo. Mukulonda kuno Mwiru yafunye obululu 6,654 , munne Igeme Nabeeta owa NRM naafuna 5043 , olwo […]
Abatta Omuyindi e Mukono babasindise mu kooti enkulu
Bya Ivan Ssenabulya Omulamuzi w’eddala erisooka mu kkooti e Mukono Mariam Nalugya asindise abasajja 4 mu kooti enkulu bawozesebwe emisango gyobutemu nga kigambibwa nti bebakuba musiga nsimbi amasasi, eyali akulira kampuni ya Nile Steel and Plastics e Nangwa. Abavunanwa kuliko Francis Ogwal owemyaka 30 ng’amukuumi […]
E Jinja kujaganya waddenga tebanalangirira
Bya Ivan Ssenabulya E Jinja abawagizi ba munna FDC Paul Mwiru bajaganya, oluvanyuma lwebifulumye ebyekiseera ebiraga nti bali waggulu. Eno abantu bakedde wakati mu nkuba okulonda , okubadde okwokuddibwamu, oluvanyuma lwa kooti okusazaamu okulondebwa kwabadde omubaka Nathan Igeme Nabeeta. Okulonda kutambudde bulungi wakati mu nkuba […]
Agambibwa okubba abasubuzi bamukutte
Bya Shamim Nateebwa Poliisi ya CPS wano mu Kampala, ekutte omuwala agambibwa okubeera mu kibinja ky’ababba mu maduuka g’omu Kampala nga beefudde abaagala okugula ebintu. Sharifa Nalubowa akwatiddwa ekitongole kya Flying Squad oluvannyuma lw’abamu ku babbibwako ebintu okumulumiriza. Abasubuuzi bagamba emirundi mingi ono azze akwatibwa […]
Palamenti etandise okunonyereza ku Kadaga ne Namuganza
Bya Moses Kyeyune Omubaka we ssaza lye Ngora mu palamenti David Abala asabye palamenti, enonyereze ku butakanya obuli wakati womukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga nomubaka we Bukono era minister webye ttaka Persis Namuganza, abesojja obutamala. Bino webijidde nga Namuganza alabiddwako ngalumba Kadaga mu lujidde. Kati […]
Poliisi egamba yakakwata 11 e Jinja
Bya Abubaker Kirunda Poliisi e Jinja ekakasizza okukwatibwa kwabantu 11, ababade bagezaako okugotaanya okulonda kwa Jinja East. Omwogezi wa poliisi mu Kiira Dianah Nandaula, ategezeza nti bano babade bagezaako okutataganya okulonda. Bano bakwatiddwa okuva ku byalo ebyenjawulo, nga katiJ bakumibwa ku CPS e Jinja. Poliisi […]
Obwakabaka bwakukolagana ne banabyabufuzi abategeera obwakabaka.
Bya Shamim Nateebwa Obwakabaka bwa Buganda bugamba nti bwakukolagana ne banabyabufuuzi bokka abategera ensonga zobwakabaka. Okusinzirra katikiiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abavvoola obwakabaka bali mu butamanya, kubanga tebamanyi kitufu na kikyamu. Owembuga okwogeera bino abadde asisinkanye Ssempala Kigozi omubaka we Makindye Ssaabagabo mu office […]
Abakyatunda sigala beetaga kuwera.
Bya Ndaye Moses. Ebibiina by’obwanakyewa bisabye government okujja licence ku bizinesi zonna ezimenya amateeka ag’okufuweeta taaba. Twogedeko naakulira ekibiina ekya Uganda National health consumers organization Robinah Kaitiritimba n’agamba nti naddala amaduuka gakyagenda mu maaso n’okutunda sigala newankubadde bakimanyidde dala nti tebakirizibwa kutunda munwe munwe. Ono […]
Okulonda kwe jinja kukyatambula bulungi.
Bya samuel ssebuliba. Akulira akakiiko k’ebyokulonda Justice Simon Byabakama akakasiza nga okulonda kwe Jinja bwekukyatambudde obulungi newankubadde waliwo ebirumira, nadala e masese ewagambibwa okubeera abakwatiddwa n’obululu obugolole. Bwabade ayogerako ne banamawulire wali e Jinja Byabakama agambye nti kituufu okulonda kugootanyiziddwa enkuba eyamaanyi ebadde etonya, […]