Amawulire

Tonyooma bakulembeze ba bantu- Besigye

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr Kiiza Besigye akolokose pulezidenti Museveni olw’ebigambo byeyayogedde ebirengezza ab’oludda oluvuganya gavumenti , ng’abanenya nti bebaviiriddeko ekibuga kampala obutakulakulana. Besigye agamba ebigambo bino binyomoola abakulembeze abalondeebwa abantu, nga era ayagala palamenti etunule mu nsonga eno kubanga tekikirizika mukulembeze w’eggwanga okweyisa […]

Ente Ntono Ezisaliddwa Ku Paasika

Ali Mivule

April 20th, 2014

No comments

  Ente ezisoba mu  1000 zesakalalibwa mu lufula ezenjawulo wano mu kampala ku lunaku lwa Easter . Omwogezi wa Lufula esinga obunene mu kampala Wilberforce Mutesasira agamba kuluno ente zibadde ntono ezisaliddwa bwogeregeranya ku paasika eziyise.  Agamba kino kivudde ku kyeeya ekimaze ebbanga eddene nga […]

Ssabalabirizi Akunze Abakulembeze ba Africa

Ali Mivule

April 20th, 2014

No comments

    Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda , Rev. Stanley Ntagali  asabye amawanga ga Africa okwanguwa okuyingira mu nsonga z’eggwanga lya South Sudan awali obutabanguko mu kiseera kino. Kino kiddiridde okulwanagana okuddamu mu ggwanga lino  nga abayekera kati beddizza ekibuga Bentiu ewasimwa amafuta.   Mu bubakabwe […]

Temunywa nemuvuga

Ali Mivule

April 19th, 2014

No comments

Poliisi erabudde abantu okwewala okunywa omwenge ate nebavuga. Omuduumizi wa poliisi  mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agambye nti poliisi egenda kusuula emisanvu ku nguudo zonna, okukwata abanywa nga bavuga. Kaweesi agambye nti polisi egenda kusinga kukolera ku nguudo omuli olwe Ntebbe, Jinja road, Masaka […]

Omubaka William Oketcho afudde

Ali Mivule

April 19th, 2014

No comments

Omubaka eyali akiikirira abantu be West Budama North afudde William Oketch yafudde mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero Mutabani w’omugenzi Val Oketcho agambye nti kitaawe yafudde akawungeezi g’eggulo mu ddwaliro ekkulu e Mulago, oluvanyuma lw’okusanyalala. Omugenzi abadde ssentebe w”ekitongole ky’amazzi ekya National water and sewerage ate […]

Ssabasajja ayagalizza abantu be paasika ennungi

Ali Mivule

April 18th, 2014

No comments

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda ayagalizza  bannayuganda amazuukira ga yezu kulistu amalungi mu bubaka bwe bw’awereeza. Kabaka agamba nti singa yesu  teyazuukira kuva mu bafu kugenda mu ggulu tewandibaddewo ssuubi. Mu bubaka bwe, kabaka ategezeza nti  eggwanga lirina okwebaza mukama katonda olw’obutebenkevu. Ayongeddeko nti abakkiriza basaanidde […]

Loodimeeya ayise omumyuka we abitebye

Ali Mivule

April 18th, 2014

No comments

Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago ayise omumyukawe Sulaiman Kidandala abitebye ku bigambibwa nti yasaba ekyoja mumiro okuva eri ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura  ajje Lukwago mu ntebe. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu makage e Wakaliga, Lukwago ategezezza nga bwekyamulumye okuwulira amawulire gano era yawulidde […]

Bulange Plaza y’eddako- Katikkiro

Ali Mivule

April 17th, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akakasiza Obuganda ng’omulimu gwokuzimba ekizimbe kya Bulange  plaza  bwegudenda okutandika era gumalirizibwa ng’omwezi gw’omusanvu omwaka gwa 2015 tegunayitta. Katikiro okwogera bino abadde mu Bulange Mengo mu kusonda ensimbi z’okuzimba amasiro ge Kasubi era ng’ensimbi ezisoba mu bukadde 11 n’ensawo […]

Pulezidenti Museveni alambudde ekibuga- asiimye Musisi

Ali Mivule

April 17th, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni atendereza omulimu ogukoleddwa akulira abakozi mu kibuga Jennifer musisi mu kukyuusa endabika y’ekibuga Ng’ayogerako eri abakozi ba KCCA e Lugogo, pulezidenti agambye nti ekibuga kampala kibadde kiddukanyizibwa b’ayise ababbi okumala ebbanga era nga beebakinnyika Ono era asabye bannakampala okwewala okuyingiza ebyobufuzi mu nsonga […]

Omubbi attiddwa

Ali Mivule

April 17th, 2014

No comments

Poliisi ye Busega eriko omusajja ateberezebwa okubeera omubbi gw’esse. Ono abadde ku kibinja ky’abanyazi 3 kyokka ng’ababiri beemuludde Aduumira poliisi  ye Katwe Ibrahim Saigs, atubuulidde nti omugenzi ategerekese nga James Openge nga mutuuze we Bombo mu distilikiti ye Luweero.