Amawulire

Aba kampala bawagidde Museveni

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

Abakulembeze b’ekibiina kya NRM mu massekati ga Kampala  basizza kimu nga nkuyege omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yesimbewo awatali amuvuganya mu kulonda kwa bonna okwa 206. Kino kiddiridde ensisinkano y’okukubaganya ebirowoozo ebadde wali  ku kitebe kya Division mu kampala amakya ga leero. Ssentebe wa Division ya […]

Bamusibye lwakulinnya mu muddo

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

Owembale  abadde akyaddeko mu kibuga  n’ayita mu muddo , kampala amuwanda lulusu. Omusajja ono bamusimbye mu kkooti n’aggulwaako emisango gy’okusaalimbira awakyaamu Emmanuel Barata  asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ku city hall Juliet Hatanga era omusnago tagwegaanye. Barata alaajanidde kkooti emusonyiwe nga agamba nti yye we Mbale […]

Abasibe tebafuna zakulya

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

Ababaka ba palamenti abaatuula ku kakiiko akakola ku byokwerinda n’ensonga z’omunda mu ggwanga kenyamidde olw’ensimbi entono eziriisa abasibe Kiddiridde aba makomera okubategeeza nga bwebatafuna obuwumbi nsimbi zirina kuliisa basibe Akulira amakomera, Dr Johnson Byabashaija ategeezezza ababaka nti buli musibe babubalira shs 3000 buli lunaku lyokka […]

Eyafulumya obutambi bwa Kaihura avunaaniddwa

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

Omusirikale agambibwa okufulumya obutambi obwakwatibwa nga mulimu ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura avunaaniddwa Ronald Poteri ng’egigye egikolera ku kakiiko akalondesa, bamuvunaanye gwa kubutola byaama n’okusasanya amawulire amafu Oludda oluwaabi nga lukulembeddwaamu Lilian Omara lugamba nti omupoliisi eno yaddira ebyaama ebyamukwasibwa ate yye n’abijabaata Alabiseeko […]

Omuvubuka atemyeeko kitaawe omutwe

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

Omuvubuka avudde mu mbeera n’atemako kitaawe omutwe. Enjega eno ebadde ku kyaalo Kasosi mu disitulikiti ye Manafwa Omuvubuka ono nno naye abatuuze bamutabukidde era okukkakkana nga bamukubye okutuuka lw’afudde Ayogerera poliisi mu bitundu kino Diana Nandawula agamba nti omugenzi Boniface Mutonyi asoose kuyomba ne mutabani […]

Fagil Mande alekulidde

Ali Mivule

April 26th, 2014

No comments

Akulira ekitongole ky’ebigezo Fagil Mande alekulidde ekifo kino. Ono agamba nti embeera ku UNEB temusobozesa kukola mirimu gye. Kiddiridde pulezidenti Museveni okwongezaayo ekisanja ekya Mathew Bukenya yadde nga kontulakita ye yaggwaako. Mande agamba nti pulezidenti talina buyinza bukola mirimu gitali gigye

Abagambibwa okutta omuyizi bavunaaniddwa

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

Abasajja bataano abagambibwa okutta omuyizi wa siniya y’omukaaga bavunaaniddwa Joan Namazzi eyali asomera ku ssomero lya St Marks Namagoma yattibwa abavubuka abaasigala nga batiisatiisa ab’oluganda lwe Abavunaaniddwa kuliko Aloysius Ssemanda, Kamad Mugabi ,Asuman Muhereza , Juma Ainebyona and Umar Mwanje. Emisango gino bagizza ng’ennaku z’omwezi […]

Bakyala bongedde okweyawula

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

Alipoota efulumiziddwa ebibiina by’abakyala eraga nti enfuga y’ebibiina ebingi eyawudde mu bakyala Alipoota eno ekoleddwa abakyala abali wansi w’ekibiina kya Isis WICCI Omusomesa ku ttendekero lye makerere,Dr. Peace Musimenta agamba nti yadde abakyala bongedde okukulakulana , mu ngeri yeemu boongedde okweyawula nga buli omu yerippa […]

Aba UMEME babatutte entyaagi

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

Poliisi ekubye omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga okugumbulula abatuuze abakubye abakozi ba Umeme ababadde bagezako okuwanulayo tulansifooma  yaabwe. Bino bibadde mu gombolola ye Kasambya mu district ye Mubende abatuuze bwebakubye abakozi bano n’emmotoka y’omubaka waabwe Patrick Mulindwa abadde azze okubawooyawooya . Bano bagamba bamaze ebbanga […]

Embalirira ya KCCA ejulidde

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

  Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwapulezidenti bongezezzayo okuteesa ku mbalirira y’ekitongole kya KCCA. Kiddiridde  akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi okulabikako maaso g’akakiiko kano awatali ba meeya ba zi division etaano ezikola  kampala. Ababaka okuli Latif Ssebaggala bagamba nti abakulembeze ba […]