Amawulire

Bamusibye lwakulinnya mu muddo

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

Owembale  abadde akyaddeko mu kibuga  n’ayita mu muddo , kampala amuwanda lulusu.

Omusajja ono bamusimbye mu kkooti n’aggulwaako emisango gy’okusaalimbira awakyaamu

Emmanuel Barata  asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ku city hall Juliet Hatanga era omusnago tagwegaanye.

Barata alaajanidde kkooti emusonyiwe nga agamba nti yye we Mbale abadde tamanyi bye kampala.

Wabula omulamuzi naye alemeddeko ng’agamba nti Mbale elina ekibuga ekiyonjo era nga n’abaayo tebakkirizibwa kusaalimbira mu muddo.

Omulamuzi amuwadde ekibonerezo kyakukola bulungi bwa nsi okumala ennaku ssatu oba yebake e Luzira emyeezi mukaaga

Embeera nno ebadde yeemu ku musajja eyasuula akapappula ka orbit mu kibuga

Joseph Kitabira nga wa myaka 38 yye asibiddwa omwezi gumu