Amawulire

Nantaba ayimirizza ab’amasanyalaze

Ali Mivule

April 14th, 2014

No comments

Minister omubeezi ow’ebyettaka  Aida Nantaba ayimirizza eby’okugoba abatuuze ku ttaka lye Kayunga  awagenda okuzimbibwa ebbibiro ly’amasanyalaze E Isimba. Kino kiddiridde kkampuni  eyapatanibwa okukola omulimu guno okulagira abatuuze okwamuka ettaka lino yadde nga ebadde tennabaliyirira. Nantaba agamba abatuuze bagende maaso n’okulima okutuusa nga baliyiriddwa. Agamba yasisinkanyemu […]

Abavubuka bakole nga bakyalina amaani- Kabaka

Ali Mivule

April 13th, 2014

No comments

Ssabasajja kabaka akalaatidde abavubuka okufaayo okukolerera obukadde bwaabwe nga bakyasobola, nga kw’ogasse n’okukulembezanga obuganda mu buli kyebakola. Buno bwebubade obubaka bwa ssabasajja eri obuganda, wakati mukukuza amazaalibwa ge ag’omulundi ogwa 59th. Emikolo emikulu gibadde ku ssomero lye Gombe secondary , era nga gitambulidde ku mulamwa […]

Pulezidenti Museveni akunze abantu okwewandiisa

Ali Mivule

April 13th, 2014

No comments

Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni atongozezza enkola ey’okuwandiisa abantu okufuna endaga Muntu ziyite Identity cards President ng’asinzira e Nakasero ,agambye nti enteekateeka eno yakuzingiramu abantu bonna abawezezza emyaka 16, era nga yakubunyisibwa mu Uganda yonna . Ono asabye banna Uganda obuteetulako beetabe mu ntekateeka […]

Akulira poliisi ye Nansana akwatiddwa

Ali Mivule

April 12th, 2014

No comments

Omuduumizi wa polisi ye Nansana Mohammed Kirumira akwatiddwa. Ono  akwatiddwa ku bigambibwa nti yalidde ekyojjamumiro kya mitwalo 20 ezamusindikiddwa ku  mobile money. Wabula Kirumira bino abyegaanye era nga alumiriza nti waliwo  ekibinja ky’ababbi abakolera wamu n’abanene mu polisi okumulwanyisa. Kirumira era agambye nti kino tekigenda […]

Omujaasi asse abantu mwenda

Ali Mivule

April 12th, 2014

No comments

  Omujaasi wa UPDF avudde mu mbeera n’ansindirira abantu mwenda amasasi agabajje mu budde. Abantu abalala 9 baddusiddwa mu ddwaliro e Fort portal ng’embeera mbi oluvanyuma lw’okufuna ebisango mu njega eno. Enjega eno egudde mu kitundu kye Karugutu  mu district ye Ntoroko mu kiro ekikeseza […]

Omwana agudde mu baafu y’amazzi n’afa

Ali Mivule

April 11th, 2014

No comments

Entiisa ebuutikidde abatuuze b’okukyalo Kawuga mu kibuga Mukono omwana bw’agudde mu baafu y’amazzi n’afa. Omugenzi ategerekese nga Liz Mukisa owemyezi 9 gyokka. Maama w’omugenzi amanyiddwa nga Namutebi agambye nti omwana we amulese amutuuzizza wansi n’agenda ayanike engoye wabula omwana ono ayavudde okutuuka ku baafu. Atwala […]

Poliisi teriimu kyekubiira

Ali Mivule

April 11th, 2014

No comments

Polisi esambaze ebyogerwa nti yabaddemu kyekubiira mu kusunsulamu abantu abawereddwa emirimu mu polisi. Omwogezi wa polisi Fred Enanga agambye nti okusunsulamu kwakoleddwa ku mutindo gwansi yona. Enanga agambye nti empapula ez’okuwandiika abagala okwewandiisa mu polisi zatwalibwa mu buli district n’ebitundu, era buli Muntu yali wadembe […]

Abasomesa bazzeeyo okusomesa

Ali Mivule

April 11th, 2014

No comments

Kyadaaki abasomesa ku tendekero ekkulu e Makerere bakiriza okudda mu bibiina okusomesa abayizi. Bano bamazze kutuula mu lukungaana abakulira entendekero, nabakiriza okuddamu okusomesa abayizi ku balaza ya weeki ejja. Abasomesa ababadde bamaze omwezi mulamba ngatebasomesa ekiviriddeko abayizi okwekalakasa ku makya galero. Amyuka ssenkulue w’entendekero lye […]

Nyombi awanguddwa mu lutalo olusoose- Gusalwa nga 24

Ali Mivule

April 11th, 2014

No comments

Ssabawolereza wa gavumenti amateeka gongedde okumutabukira nga abalamuzi abataano abakulembeddwamu omulamuzi Esther Kisakye bagaanye okusaba kwe okwemulugunya kwa loodi meeya kugobwe. Bano bategezezza nga ono bwalameddwa okubawa ensonga ematiza ddala lwaki bagoba okusaba kwa loodi meeya Lukwago era nebatekawo ennaku z’omwezi nga 24 April kwebagenda […]

Lukwago yawaaba mu bukyaamu- ssabawolereza

Ali Mivule

April 11th, 2014

No comments

  Ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi asabye nti okusaba kwa loodimeeya Erias Lukwago kugobwe kubanga yakukola mu bukyaamu. Nyombi agamba nti okusaba kuno okuli mu kkooti y’okuntikko si kutangaavu era nga tekulina kakwate ku byava mu kkooti ejulirwaamu. Ono agamba nti okusalawo okukoleddwa omulamuzi omu […]