Olwali

Alidde ekigere ky’omuntu

Ali Mivule

August 29th, 2013

No comments

Omusajja alidde akagere k’omuntu mu baala atanziddwa doola ebikumi bitaano Akagere kano kabadde kasuuuliddwa mu mwenge nga bw’eri enkola ku ggwnaga lya Canada mu kibuga Dawson. Mu kibuga kino abaayo , wabaawo empaka ng’omuntu anyway omwenge guno okutuuka lweguggwaamu akagere kano nekakoona ku mimwa gye […]

Cranes esitudde

Ali Mivule

August 29th, 2013

No comments

Team ye gwanga eya Cranes esitudde emisana ga leero ku nyonyi ya Kenya Airways nabazanyi amakumi 20,okwolekera  egwanga lya Botswana. Eno  gyebagenda okusamba omupiira ogwomukwano nga tebanagenda Morocco okusamba ne Senegal week ejja. Mu mpaka ez’okusunsulamu abaneetaba mu za World cup ezigenda okubeera e Brazil […]

Eza masaza

Ali Mivule

August 29th, 2013

No comments

Empaka za kamalirizo eza massaza ez’omwaka guno zikakasidwa nga zakubeerayo nga 5th omwezi ogwekumi,october. Omuwandiisi wakakiiko akateesi teesi kempaka zino Rogers Mulindwa ategezezza nga Ssabassajja Ronald Muwenda Mutebi bwasiimye okuggalawo empaka zino era zigenda kubeera mukisaawe e,Nakivubo. Empaka zino ziri kuluzanya lwa semi finals eziri […]

Endwadde ezitawona

Ali Mivule

August 29th, 2013

No comments

Gavumenti erangiridde enteekateeka z’okutuusa obujjanjabi eri abantu abalina obulwadde obutawona mu districts 112 ezikola Uganda Ng’ayogerera mu lukiiko olukubaganya ebirowoozo ku nzijanjaba eno, minster Sarah Opendi agambye nti bagenda kutandika na kusomesa ba naasi abakola ku bantu bano nga tebannatuuka mu bitundu eby’enjaawulo. Ku bantu […]

Bakubaganye empawa

Ali Mivule

August 29th, 2013

No comments

Gavumenti ekubaganye empawa ku by’omusujja oguva ku nkwa ogumanyiddwa nga Congo Crimean fever. Yadde nga waliwo abantu abalala bana abaakakasiddwa okufuna ekirwadde kino, ate minister akola ku byobujjanjabi ebisookerwaako, Sarah Opendi agamba nti tewali muntu mulala era nga bafunye okutaayiza obulwadde buno obutagenda mu bitundu […]

Tewali bitanda

Ali Mivule

August 29th, 2013

No comments

Amalwaliro gonna mu ggwanga galina obuzibu bw’obutaba na bitanda Ministry ekola ku byobulamu egamba nti yeetaga obuwumbi 22 nga zino zakugula bitanda na mifaliso Minister omubeezi akola ku byobulamu, Dr Ellioda Tumwesigye agamba nga bafunye ensimbi zino omugotteko gujja kukendeerako mu malwaliro Ensonga eno  ereeteddwa […]

Makerere eggulawo nga 7 September

Ali Mivule

August 29th, 2013

No comments

Ettendekero ekkulu e Makerere liggulwaawo nga musanvu omwezi ogujja Kino kituukiddwa mu Lukiiko olwetabiddwaako abakulira akakiiko akatwala ettendekero olw’eggulo lwa leero. Kino nno kiddiridde abasomesa okutuuka ku kukkaanya okuddamu okukola oluvanyuma lwa ssabiiti namba nga beediimye. Abasomesa bano kino bakikoze oluvanyuma lw’ettendekero okubongera ku kasente […]

Amayembe galumbye abe Nalukolongo

Ali Mivule

August 28th, 2013

No comments

Embeera ekyali ya bunkenke  e kasenyi  wali e  Nalukolongo ng’amayumba 10 geegamaze okusanyizibwaawo,. Amayembe agagambibwa nti gaagulwa omuntu atannaba kutegerekeka negamusaba abantu 7 era nga yattako babiri bokka. Gano obwedda agoogerera waggulu era gategeezezza nga bwegetaaga obukadde buna okugenda oluvanyuma lw’okuwa eyagaleeta obugagga. Akulira abasawo […]

Ebiyenje bitolose

Ali Mivule

August 28th, 2013

No comments

Mu ggwnaga lya China omusajja abadde alunda ebiyenje ebiri mu kakadde bimutoloseeko okuva mu famau mw’abadde abikuliza Ebiyenje bino bibadde bikozesenwa abasawo b’ekinnasnsi era ng’omulunzi ono yasalawo okubikuza yefunire akasente Kigambibwa okuab ng’ebiyenje bino okutoloka waliwo akumye omuliro ku biyumba byaabyo.  

Serunkuuma ne Dhaira ssibakuzannya

Ali Mivule

August 28th, 2013

No comments

Omuzannyi Daniel Sserunkuuma n’omukwasi wa goolo Abbey Dhaira ssibakwetaba mu gw’omukwano wakati wa Cranes ne Bostswana ku lunaku lw’omukaaga Omutendesi wa tiimu Micho agamba nti Serunkuuma tiimu gy’asambira mu Kenya yagaanye okumuta ate ng’alina okutya nti Dhaira ayinz aokuba nga tannawona oluvanyuma lw’okufuan obuvune Wabula […]