Amawulire
Namungoona-bazze bakondoka
Abantu abakosebwa omuliro ogwakwata eddwaliro lye Mulago bajja bakondoka mpola. Omuvubuka ow’emyaka 17 gyokka abadde apooca n’ebiwundu naye afudde Hassan Nsubuga y’omu ku bantu abaayokebwa omuliro ogwava ku ki loole ekyali kyetisse amafuta, ekyayabika nekituntumuka omuliro e Namungoona ku Northern bypass. Abantu abaasangibwa mu kitundu […]
Abakyala bakaaye
Mu ggwanga lya Zimbabwe abasajja ssi bakukomba ku kaboozi ssinga tebetaba mu kulonda. Minister mu gavumenti y’akunze abakyala bonna okumma ba baabwe omukwano okutuusa nga bamaze okwewandiisa okulonda. Priscilla Muhsonga agambye nti abasajja bangi beebulankanya ng’okulonda kutuuse olwo eby’okulonda nebabirekamu bakyala bokka. Omukyala […]
Empaka z’emmotoka zissiddwamue nsimbi
Company ya shell etadde millions shs100m mumpaka za Pearl of Afric a Rally ezomwaka guno. Empaka zino zitongozedwa olunaku lwaleero ku Shell Lugogo era zakubaayo nga enaku zomwezi 16thne 17th August omwezi ogujja. Abavuzi amakumi 21 bamaze okwewandiisa era nga abategesi basuubira emotoka amakumi 40 […]
Ryan Giggs alidde
Ryan Giggs alondeddwa okutendeka banne Aba Manchester United beebalonze Giggs ng’omutendesi ow’omu tiimu asooka ate Phil Neville yye agenda kwegatta ku David Moyes ng’omuyambi Giggs ow’emyaka 39 abadde atendekebw aokufuuka koki era nga wakufuna licence akadde konna
Abaddusi batuuse
Ekibinja ekisooka ekyabana’Uganda abagenda okwetaba mu mpaka zensi yonna ezamatendekero ga Universities ezigenda okutandika kulwomukaaga lwa week eno nga 6th okutuuka nga 17th July omwezi guno kituuse mu gwanga lya Russia. Abasoose okutuuka kuliko omutendesi Kiwa Faustino,Sebuliba Patrick kwosa nabaddusi Njia Benjamin ne Nanyondo Winnie. Okusinziira kusentebe wekibiina […]
Uganda esenvudde
Uganda erinye ebifo 13 munsengeka yamawanga agasinga okucanga akapiira munsi yonna kulukalala olufulumizidwa ekibiina ekikulembera omupiira munsi yonna ekya Fifa. Uganda esenvudde okuva mukifo ekye 93th okudda mukye 80th nga kino kidiridde Uganda Cranes okuwangula emipiira omuli Liberia ne Angola mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mu za World […]
Ebyobulamu bibulamu
Nga amawanga galindidirra nsalasale wokutukirirza ebiruubirirwa byekyaasa kino mu mwaaka 2015 gavt yakuno essira esinze kuliteeka ku byabulamu. Mu biruubirirwa 8 mwemuli okukendeeza ku muwendo gwabaana abafa nga bawere abakyaala abafiira musanya nebirala. Minister wensonga zamawanga amalala , Sam Kuteesa agamaba Uganda yegaganudde nyo okukendeeza […]
Amasira geegabatta
Abakugu mu byobulamu bagamba abantu abaafuna akayokebwa omuliro wali e namungoona bafa lwakuggwamu mazzi. Akulira etendekero erinoonyereza ku nddwadde Dr Alex Coutinho agamba oluvanyuma lwomuliro okuyingira mu mibiri gyaabwe, abalwadde bano baafirwa amazzi manji mumubiri era kwekutondoka. Bino abyoogedde etendekero lino liwaayo ebikozesebwa […]
Namukadde amaze okusoma
Namukadde mu ggwanga erya mexico akoze ekyaafayo bwamazeko ekibiina kya primary nga aweza emyaaka 100. Manuela Hernandez, yazaalibwa mu saza lye of Oaxaca June 1913, wabula nawanduka mu somero nga alina okunoonyeza abomumkage ekyiokulya. Omu ku bazukulu be byeyamuwadde amagezu addemu okusoma kyeyakioze noluvanyuma namalako. […]
Egypt efunye pulezident omuggya
Omulamuzi omukulu owa kkooti etaputa ssemateeka mu ggwanga lya Egypt, Adli Mansour, alayiziddwa ng’omukulembeze ow’ekiseera. Kino kiddiridde amaggye okumaamulako abadde akulira eggwanga eryo Mohammed Morsi. Akulira amaggye Gen Abdul Fattah al-Sisi alangiridde nga Morsi bwamaamuddwa mu buyinza. Morsi kino yakiyise kumuwamba nga kikolebwa abajaasi. Gen […]