Ebyemizannyo

Uganda esenvudde

Ali Mivule

July 4th, 2013

No comments

coach
Uganda erinye ebifo 13 munsengeka yamawanga agasinga okucanga akapiira munsi yonna kulukalala olufulumizidwa ekibiina ekikulembera omupiira munsi yonna ekya Fifa.
Uganda esenvudde okuva mukifo ekye 93th okudda mukye 80th nga kino kidiridde Uganda Cranes okuwangula emipiira omuli Liberia ne Angola mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mu za World cup omwaka ogujja.
Egwanga lya Spain lyerikyakulembedde munsi yonna ate wo mu Africa Ivory coast nekulembera nga munsi yonna ekwata kifo kya 13th .
Team ya Cranes abagusambira awaka ,mukiseera kino eri mukwetegekera mpaka za CHAN nga egenda kusamba Tanzania week ejja naye yakusooka kusamba gwamukwano negwanga lya Iraq nga 9th july omwezi guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *