Ebyemizannyo

Abaddusi batuuse

Ali Mivule

July 4th, 2013

No comments

Athletese arrive

Ekibinja ekisooka ekyabana’Uganda  abagenda okwetaba mu mpaka zensi yonna ezamatendekero ga Universities ezigenda okutandika kulwomukaaga lwa week eno nga 6th okutuuka nga 17th July omwezi guno kituuse mu gwanga lya Russia.

Abasoose okutuuka kuliko omutendesi Kiwa Faustino,Sebuliba Patrick kwosa nabaddusi Njia Benjamin ne Nanyondo Winnie.
Okusinziira kusentebe wekibiina ekikulembera emizanyo gya Universities mugwanga Penninah Kabenge,ategezezza nga bwasuubira  omugatte gwabantu 27  olunaku lwenkya nga empaka tezinagulwaawo.
Egimu kumizanyo bana’Uganda gyebagenda okwetabamu kuliko Chess, Badminton, Okuwuga wamu nemisinde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *