Amawulire

Amasomero gassizza obubonero

Amasomero gassizza obubonero

Ali Mivule

January 28th, 2016

No comments

Wetwogerera ng’okusunsulamu abayizi abagenda okwegatta ku masomero ga siniya  kugenda mu maaso, wabula agamu ku masomero naddala agamanya, era amakadde bwe gasazeewo okukkakkanya ku bubonero abaana kwebayingirira. Agamu ku masomero gabadde geewanise kubunonero 5 ku balenzi, kko n’omukaaga ku bawala , wabula nga kati gakakanye […]

Emikwano gyegituwa ssente-NRM

Emikwano gyegituwa ssente-NRM

Ali Mivule

January 28th, 2016

No comments

Ekibiina kya NRM kivuddeyo nekitegeeza nga ensimbi zonna zekizze kikozesa bweziva mu bagabirizi b’obuyamba  nabakyagaliza ebirungi . Bano okuvaayo kiddiridde ekibiina kya transparency international okutegeeza  nga bano bwebaakozesa ensimbi  obuwumbi 27 mu ssabiiti 8 zokka , nga bano baddirirwa Amama Mbabazi n’akawumbi kamu ate Dr […]

Amaggye gagumizza bannayuganda ku buyinza

Amaggye gagumizza bannayuganda ku buyinza

Ali Mivule

January 28th, 2016

No comments

Amaggye g’eggwanga gakussa ekitiibwa mu bantu kyebanaasalawo mu kalulu akagenda okusuulibwa omwezi ogujja. Ssabaduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala y’akakasizza eggwanga bw’ati. Kino kizze nga Gen Kale Kaihura yakamala okutegeeza nga poliisi bw’etaggya kukkiriza kukwasa bavuganya buyinza wakiri okujjayo emmundu okutaasa eggwanga. NG’ayogerera ku mukolo […]

Emyaka 15 mu kkomera lwakutta muzzukkulu

Ali Mivule

January 28th, 2016

No comments

Omukazi owe myaka 76 agambibwa okutta muzukulu we asaliddwa ekibonerezo kya myaka 18 mu kkomera. Ono nno abadde yakamala ku alimanda emyaka 3 nga kati wakwebakayo emyaka 15 YYe muzukkulu we bwebazza emisango Hussein Lukenga asaliddwa ekibonerezo kya myaka 35 mu kkomera nga naye kati […]

Biraaro akwasiddwa omudaali

Biraaro akwasiddwa omudaali

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Omukago gw’ebibiina by’abakyala mu ggwanga gukwasizza eyesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga Rtd. Maj. General Benon Biraaro omusubbaawa gw’emirembe. Omusubbaawa guno kabonero eri abeesimbyeewo nti bakukola kyonna ekisoboka okulaba nti okulonda kuba kwa mirembe Akulira omukago gw’abakyala guno Rita Aciro asabye Biraaro okubeera omumuli gw’emirembe buli gy’alaga […]

Teri yatugambye ku kibba kalulu- Kakiiko akalondesa

Teri yatugambye ku kibba kalulu- Kakiiko akalondesa

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Akakiiko akalondesa tenabba kufunako kwemulugunya kwonna okukwata ku kibba bululu. Abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga bavuddeyo nebategeeza nti bagudde mu lukwe lw’okubba akalulu nga ku bano kwekuli Dr Kiiza Besigye, Amama Mbabazi ne pulezidenti Museveni Wabula akulira akakiiko akalondesa Eng Badru kiggundu agamba nti bino bipya […]

Kkooti eragidde ku Aine

Kkooti eragidde ku Aine

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu kampala eragidde kampuni z’amasimu okuli MTN ne Airtel okuleeta olukalala lw’amasimu agaakubibwa  n’okukubirwa akulira abakuumi ba Mbabazi Christopher Aine balabe oba ddala yayogera ne kizibwe we Ezra Kabugo nga tanabuzibwawo. Omulamuzi ategezezza nga bwebaagala omusango omukulu ogw’abenyumbaye okusaba Aine aleetebwe […]

Ebikwekweto mu Senegal

Ebikwekweto mu Senegal

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Poliisi mu ggwanga lya Senegal ekoze ekikwekweto n’eyoola abantu 900 oluvanyuma lw’abatujju okulumba ku mulirwaano mu  Burkina Faso ne Mali. Ab’obuyinza bagamba tebajja kulinda kino kutuuka waabwe nga kati bbo batandikiddewo okunhyweza ebyokwerinda nga buli gwebekengera bamuyoola. Gavumenti era eragidde woteeri zonna okunyweza eby’okwerinda oba […]

Besigye ali kalangala, Mbabazi Gomba, Museveni Hoima , Barya ali mu kibuga

Besigye ali kalangala, Mbabazi Gomba, Museveni Hoima , Barya ali mu kibuga

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Akwatidde ekibiina kya FDC bendera  Dr. Kizza Besigye asimbudde okwolekera ebiznga bye Kalangala okwongera okusaggula akalulu akanamutuusa ku bukulembeze bw’eggwanga. Besigye awerekeddwako ssenkaggale w’ekibiina kya FDC  Maj Gen Mugisha Muntu, loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago ssaako n’abakungu b’ekibiina abalala. Besigye wakuyitako e  Bubeke oluvanyuma […]

Okulonda kwe Municipaali ye Mukono kususseemu akavuyo

Okulonda kwe Municipaali ye Mukono kususseemu akavuyo

Ali Mivule

January 27th, 2016

No comments

Akulira eby’okulonda e Mukono Sarah Namugambe awabudde nti okulonda kwa municipaali eno kuyimirizibwe olw’effujjo erisusse. Kino kiddiridde efujjo n’okulwanagana ebisusse mu kitundu kino nga abesimbyewo abawerako bamenya amateeka g’ebyokulonda. Namugambe alumiriza omubaka w’ekitundu kino Betty Nambooze okukyankalanya olukungaana olwabadde lutegekeddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda okugonjoola obutakkanya […]